OLUYIMBA 140
Obulamu Obutaggwaawo Butuuse!
Printed Edition
1. Okuba ’kafaananyi
Ng’otuuse mu nsi empya;
’Bantu bali mu ddembe;
’Bulamu bwa ssanyu!
(CHORUS)
Yimba nnyo n’essanyu!
Ojja kukiraba.
Weesunge nnyo ’bulamu
Obutaliggwaawo!
2. Abaali bakaddiye,
Bonna nga bazze buto.
Tewakyali kusinda
Wadde okukaaba
(CHORUS)
Yimba nnyo n’essanyu!
Ojja kukiraba.
Weesunge nnyo ’bulamu
Obutaliggwaawo!
3. ’Lusuku lwa Katonda
Lujja kutunyumira.
Tuneebaza nnyo ddala
Omutonzi waffe.
(CHORUS)
Yimba nnyo n’essanyu!
Ojja kukiraba.
Weesunge nnyo ’bulamu
Obutaliggwaawo!
(Laba ne Yob. 33:25; Zab. 72:7; Kub. 21:4.)