Oluyimba 55
Obulamu Obutaggwaawo—Butuuse!
Printed Edition
1. Munda yo olaba nga
’Bantu bali mu ddembe?
Emirembe Gituuse!
Bulamu bwa ssanyu.
(CHORUS)
Yimba nnyo n’essanyu!
Ojja kukiraba.
’Bulamu ’butaggwaawo,
“Bunaaba butuuse!”
2. ’Lususu lw’omukadde,
Luliba ng’olw’omwana.
’Bizibu biweddewo,
’Kukaaba kukomye.
(CHORUS)
Yimba nnyo n’essanyu!
Ojja kukiraba.
’Bulamu ’butaggwaawo,
“Bunaaba butuuse!”
3. Ffenna tunanyumirwa
’Lusuku lwa Katonda.
Tuneebaza nnyo ddala
Omutonzi waffe.
(CHORUS)
Yimba nnyo n’essanyu!
Ojja kukiraba.
’Bulamu ’butaggwaawo,
“Bunaaba butuuse!”
(Era laba Yob. 33:25; Zab. 72:7; Kub. 21:4.)