Oluyimba 148
Wawaayo Omwana Wo Eyazaalibwa Omu Yekka
Printed Edition
Wanula:
Yakuwa, Kitaffe,
Tetwalina ssuubi.
Kati tulirina
Lwa kinunulo!
Twewaddeyo gy’oli
Okukuweereza.
Tuyita ’balala
Bakole by’osiima.
(CHORUS)
Wawaayo ’Mwana wo,
Kyetuva tuyimba;
Era tunaayimbanga
Emirembe n’emirembe.
Ekisa ky’olina,
Kitusikiriza.
Erinnya lyo kkulu;
Tulyagala nnyo.
Naye ’kisingayo
Ye Mwana wo Yesu
Gwe watuma ku nsi
Okutufiirira.
(CHORUS)
Wawaayo ’Mwana wo,
Kyetuva tuyimba;
Era tunaayimbanga
Emirembe n’emirembe..
(ENDING)
Yakuwa, Kitaffe, tusiima nnyo ddala
Ssaddaaka ya Yesu gye wawaayo ku lwaffe.
(Era laba Yok. 3:16; 1 Yok. 4:9.)