Oluyimba 147
Ekintu kya Katonda Ekiganzi
Printed Edition
Wanula:
Ekitonde ekiggya,
Be baana ba Katonda.
Yabagula mu bantu,
Era abasiima.
(CHORUS)
Ba muwendo gy’oli;
Bantu ab’erinnya lyo.
Bakutendereza;
Balangirira ettendo lyo.
Bano ggwanga ttukuvu;
Baagala amazima.
Katonda yabalaga
Ekitangaala kye.
(CHORUS)
Ba muwendo gy’oli;
Bantu ab’erinnya lyo.
Bakutendereza;
Balangirira ettendo lyo.
Bafuba ’kukuŋŋaanya
Ab’endiga endala.
Beesigwa eri Yesu
Era bawulize.
(CHORUS)
Ba muwendo gy’oli;
Bantu ab’erinnya lyo.
Bakutendereza;
Balangirira ettendo lyo.
(Era laba Is. 43:20b, 21; Mal. 3:17; Bak. 1:13.)