Oluyimba 152
Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
Printed Edition
Wanula:
Yakuwa ’tuwadde essuubi
ekkakafu ddala.
Twagala abantu bonna
balitegeereko.
Naye ebiseera ebimu,
tuyinza okuggwaamu
Amaanyi olw’ebizibu
ebitali bimu.
(CHORUS)
Ai Yakuwa, ggwe
bwesige bwaffe.
Ggwe ssuubi lyaffe, n’amaanyi.
Tubeera bavumu
nga tubuulira
kubanga ggwe gwe twesiga.
Ai Yakuwa, tukusaba
otuwe ’mitima
Emiwulize bulijjo
tuleme ’kkuvaako.
K’emitima gyaffe giggweemu
okutya, twogerenga
N’obuvumu ku linnya lyo
ekkulu bulijjo.
(CHORUS)
Ai Yakuwa, ggwe
bwesige bwaffe.
Ggwe ssuubi lyaffe, n’amaanyi.
Tubeera bavumu
nga tubuulira
kubanga ggwe gwe twesiga.
(Era laba Zab. 72:13, 14; Nge. 3:5, 6, 26; Yer. 17:7.)