OLUYIMBA 131
“Katonda ky’Agasse Awamu”
Printed Edition
1. Bagattiddwa leero
Era balayidde,
Mu maaso ga Katonda,
Ne mu maaso gaffe.
(CHORUS 1)
Omwami alayidde
’Kwagal’o mukyala.
Yee, ‘Katonda ky’agasse,
Tekyawulwangamu.’
2. Basomye ’Kigambo
Kya Katonda bombi,
Bamanye by’ayagala
Byonna nga bwe biri.
(CHORUS 2)
’Mukyala alayidde
Okwagalanga bba.
Yee,‘Katonda ky’agasse,
Tekyawulwangamu.’
(Laba ne Lub. 2:24; Mub. 4:12; Bef. 5:22-33.)