Weetegekedde Embeera Eyetaagisa Obujanjabi obw’Amangu?
Obulwadde buyinza okujja embagirawo nga tobwetegekedde. (Yak. 4:14) N’olwekyo, omuntu omutegeevu yeetegeka nga bukyali. (Nge. 22:3) Omaze okusalawo obujjanjabi obutali bwa kuteekebwamu musaayi bw’onokkiriza era n’obuteeka mu buwandiike? Vidiyo eyitibwa Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights esobola okukuyamba okusalawo obulungi, ng’eno ye vidiyo eyokubiri ku DVD erina omutwe ogugamba ntiTransfusion-Alternatives—Documentary Series. Ng’olaba vidiyo eno, weetegereze engeri gy’oyinza okuddamu ebibuuzo ebyo wammanga. Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abalwadde nga balongoosebwa, abazadde basaanidde okusalawo obanga banaagirabira wamu n’abaana baabwe abato. Vidiyo eyo bwe muba temugirina, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004 n’eya Okitobba 15, 2000, oba ebyo ebiri mu lupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006.
(1) Lwaki abasawo abamu bazzeemu okwekenneenya enzijanjaba ey’okuteekamu abantu omusaayi? (2) Waayo ebyokulabirako bisatu eby’okulongoosa okw’amaanyi okwakolebwa ng’abalwadde tebateekeddwamu musaayi. (3) Lwaki abasawo nkumi na nkumi okwetooloola ensi yonna beetegefu okujjanjaba abalwadde nga tebabataddeemu musaayi? (4) Gye buvuddeko awo, biki abasawo bye bazudde ebikwata ku kukozesa omusaayi? (5) Bizibu ki ebiva mu kuteekebwamu omusaayi? (6) Abasawo bangi boogedde ki ku bikwata ku miganyulo egiri mu kukozesa ebintu ebirala mu kifo ky’omusaayi? (7) Kiki ekireetera omuntu okuggwamu omusaayi, era kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okuyamba omuntu atalina musaayi gumala? (8) Kiki ekiyinza okukolebwa okusobozesa omubiri gw’omulwadde okwongera ku bungi bw’obutofaali obumyufu? (9) Nkola ki ezeeyambisibwa okusobola okuyamba omuntu obutavaamu musaayi mungi ng’alongoosebwa? (10) Ebintu ebirala ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi biyinza okukozesebwa ne ku baana abato n’abalwadde abayi? (11) Ekimu ku bintu ebikulu abasawo bye basaanidde okujjukira okusobola okuwa abalwadde obujjanjabi obulungi kye kiruwa?
Okuva bwe kiri nti omuntu asinziira ku muntu we ow’omunda okusalawo obanga anakkiriza obumu ku bujjanjabi obulagiddwa mu vidiyo, tolinda kufuna kizibu olyoke osalewo obujjanjabi bw’onokkiriza ne bw’otokkirize. Essuula 7 ey’akatabo “Kwagala kwa Katonda,” n’ebyo ebiri mu lupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006, bijja kukuyamba okusalawo obulungi ng’osinziira ku ebyo by’onooba oyize. Oluvannyuma, bw’oba ng’oli mubatize, jjuzaamu kaadi eya DPA, ng’olaga obujjanjabi bw’osazeewo okukozesa, era otambule ne kaadi yo buli w’olaga.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]
Omaze okusalawo obujjanjabi obutali bwa kuteekebwamu musaayi bw’onokkiriza era n’obuteeka mu buwandiike?