Vidiyo Eraga Enzijanjaba Abasawo gye Batandise Okwettanira
Abakugu mu by’amateeka ne mu by’ekisawo beeyongedde okufaayo ennyo ku ndowooza z’abalwadde n’eddembe lyabwe. Kino kiviiriddeko okutandikawo engeri z’enzijanjaba empya Abajulirwa ba Yakuwa ze basobola okuganyulwamu. (Bik. 15:28, 29) Ebyo vidiyo Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights by’eraga. Girabe, era wejjukanye by’oyize.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eyo erimu ebitundu ebiraga abalwadde nga balongoosebwa, abazadde balina okukozesa amagezi nga bagiraba n’abaana abato.
(1) Lwaki abamu ku basawo bazzeemu okwekenneenya enzijanjaba ey’okuteekamu abantu omusaayi? (2) Waayo ebika bisatu eby’okulongoosa okw’amaanyi okwakolebwa nga tebawadde balwadde musaayi. (3) Abasawo bameka okwetooloola ensi abalaze nti beetegefu okujjanjaba abalwadde nga tebakozesezza musaayi? Lwaki beetegefu okukola kino? (4) Gye buvuddeko awo, biki abasawo bye bazudde ebikwata ku kukozesa omusaayi? (5) Buzibu ki obuva mu kuteekebwamu omusaayi? (6) Abasawo bangi bagambye ki ku bikwata ku miganyulo egiri mu kukozesa ebintu ebirala mu kifo ky’omusaayi? (7) Kiki ekireetera omuntu okuggwamu omusaayi? Omuntu bw’aba talina musaayi gumala, omubiri gwe guyinza kukigumiikiriza kutuuka wa nga tannatuukibwako kabi ka maanyi? Kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okuyamba omuntu atalina musaayi gumala? (8) Kiki ekiyinza okukolebwa okusobozesa omubiri okwongera ku bungi bw’obutofaali obumyufu obubeera mu musaayi? (9) Ngeri ki ezeeyambisibwa okuyamba omuntu obutavaamu musaayi mungi nga bamulongoosa? (10) Ebintu ebirala ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi biyinza n’okukozesebwa ku baana n’abalwadde abayi? (11) Ekimu ku bintu ebikulu abasawo kye bandirowoozezzaako nga bajjanjaba abalwadde kye kiruwa? (12) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okulonda enzijanjaba eziteetaagisa kukozesa musaayi nga bukyali? Kino tuyinza kukikola tutya?
Okusalawo okujjanjabibwa nga bwe kiragiddwa mu vidiyo, kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda atendekeddwa Baibuli. Omaze okusalawo ebintu ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi ggwe n’abaana bo bye munakkiriza? Ab’omu maka go abatali Bajulirwa olina okubategeeza obulungi ku kusalawo kwo n’ensonga lwaki osazeewo bw’otyo.—Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower aka Jjuuni 15, 2004, n’aka Okitobba 15, 2000.