LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 1/08 lup. 6
  • Tonnagijjuzaamu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tonnagijjuzaamu?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • Tonnagijjuzaamu?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Vidiyo Eraga Enzijanjaba Abasawo gye Batandise Okwettanira
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Vidiyo Eraga Enzijanjaba Enkulu Egobererwa mu by’Ekisawo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Weetegekedde Embeera Eyetaagisa Obujanjabi obw’Amangu?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 1/08 lup. 6

Tonnagijjuzaamu?

Okujjuzaamu ki? Okujjuzaamu kaadi eyitibwa DPA (durable power of attorney) eweebwa ababuulizi ababatize. Okuva bwe kiri nti ‘tomanyi kinaakutuukako nkya,’ kikulu nnyo okusalawo nga bukyali n’okussa mu buwaandiike ebyo ebikwata ku nzijanjaba ze wandikkirizza singa ofuna obuzibu obw’amangu. (Yak. 4:14; Bik. 15:28, 29) Vidiyo eyitibwa Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights yafulumizibwa okusobola okukuyamba mu kino. Girabe, era oluvannyuma lw’okusaba, wejjukanye ebyo by’oyize ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa wammanga.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abalwadde nga balongoosebwa, abazadde basaanidde okusalawo obanga banaagirabira wamu n’abaana baabwe abato oba nedda.

(1) Lwaki abasawo abamu bazzeemu okwekenneenya enzijanjaba ey’okuteekamu abantu omusaayi? (2) Waayo ebyokulabirako bisatu eby’okulongoosa okw’amaanyi okwakolebwa ng’abalwadde tebaweereddwa musaayi. (3) Abasawo bameka okwetooloola ensi yonna abalaze nti beetegefu okujjanjaba abalwadde nga tebakozesezza musaayi? Lwaki beetegefu okukola kino? (4) Gye buvuddeko awo, biki abasawo bye bazudde ebikwata ku kukozesa omusaayi? (5) Bizibu ki ebiva mu kuteekebwamu omusaayi? (6) Abasawo bangi bagambye ki ku bikwata ku miganyulo egiri mu kukozesa ebintu ebirala mu kifo ky’omusaayi? (7) Kiki ekireetera omuntu okuggwamu omusaayi? Omuntu bw’aba talina musaayi gumala, omubiri gwe guyinza kukigumiikiriza kutuuka wa nga tannatuukibwako kabi ka maanyi? Kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okuyamba omuntu atalina musaayi gumala? (8) Kiki ekiyinza okukolebwa okusobozesa omubiri gw’omulwadde okwongera ku bungi bw’obutofaali bw’omusaayi obumyufu? (9) Nkola ki ezeeyambisibwa okusobola okuyamba omuntu obutavaamu musaayi mungi ng’alongoosebwa? (10) Ebintu ebirala ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi biyinza okukozesebwa ne ku baana bato n’abalwadde abayi? (11) Ekimu ku bintu ebikulu abasawo bye basaanidde okujjukira nga bajjanjaba abalwadde kye kiruwa? (12) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okulonda nga bukyali enzijanjaba ezitazingiramu kuteekebwamu musaayi? Kino tuyinza kukikola tutya?

Kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda atendekeddwa Baibuli okukkiriza obumu ku bujjanjabi obulagiddwa mu vidiyo. Omaze okusalawo bujjanjabi bwa ngeri ki obutali bwa kuteekebwamu musaayi ggwe n’abaana bo bwe munakkiriza? Okusobola okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba ekitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004, n’eya Okitobba 15, 2000 awamu n’ebyo ebiri mu kapapula ak’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006, wansi w’omutwe “Ntwala Ntya Obutundutundu Obuggiddwa mu Musaayi n’Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi Gwange?” Ekyo ky’osazeewo osaanidde okukitegeeza abo b’owadde obuvunaanyizibwa obw’okukujjanjaba awamu n’ab’omu maka go abatali Bajulirwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share