Vidiyo Eraga Enzijanjaba Enkulu Egobererwa mu by’Ekisawo
Abakugu mu by’amateeka ne mu by’ekisawo beeyongedde okufaayo ennyo ku ndowooza z’abalwadde n’eddembe lyabwe. Kino kiviiriddeko okutandikawo engeri z’enzijanjaba empya Abajulirwa ba Yakuwa ze basobola okuganyulwamu. (Bik. 15:28, 29) Ebyo vidiyo Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights by’eraga. Girabe, era wejjukanye by’oyize.—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eyo erimu ebitundu mwe balagira nga balongoosa, abazadde balina okukozesa amagezi nga bagiraba n’abaana abato.
(1) Lwaki abasawo bazzeemu okwekenneenya enzijanjaba ey’okuteekamu abantu omusaayi? (2) Waayo ebika bisatu eby’okulongoosa okw’amaanyi okwakolebwa nga tebawadde balwadde musaayi. (3) Abasawo bameka okwetooloola ensi abalaze nti beetegefu okujjanjaba abalwadde nga tebakozesezza musaayi? Lwaki beetegefu okukola kino? (4) Gye buvuddeko awo, biki abasawo bye bazudde ebikwata ku kukozesa omusaayi? (5) Buzibu ki obuva mu kuteekebwamu omusaayi? (6) Abasawo batuuse ku ki ku bikwata ku miganyulo egiri mu kukozesa ebintu ebirala mu kifo ky’omusaayi? (7) Kiki ekireetera omuntu okugwamu omusaayi? Omubiri guyinza kukigumiikiriza kutuuka wa? Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba omuntu atalina musaayi gumala? (8) Kiki ekiyinza okukolebwa okuleetera omubiri okwongera ku bungi bw’obutoffaali obumyufu obubeera mu musaayi? (9) Ngeri ki ezeeyambisibwa okuyamba omuntu obutavaamu musaayi mungi nga bamulongoosa? (10) Ebintu ebirala ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi biyinza n’okukozesebwa ku baana n’abalwadde abayi? (11) Ekimu ku bintu ebikulu abasawo kye bandirowoozezzaako nga bajjanjaba abalwadde kye kiruwa? (12) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okulonda enzijanjaba eziteetaagisa kukozesa musaayi nga bukyali? Kino tuyinza kukikola tutya?
Okusalawo okujjanjabibwa nga bwe kiragiddwa mu vidiyo, kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda atendekeddwa Baibuli. Omaze okusalawo ebintu ebikozesebwa mu kifo ky’omusaayi ggwe n’abaana bo bye munakkiriza? Ab’omu maka go abatali Bajulirwa balina okutegeezebwa obulungi ku kusalawo kwo n’ensonga lwaki osazeewo bw’otyo.—Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu The Watchtower aka Jjuuni 15 ne Okitobba 15, 2000.