Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Kenya: Mu Agusito, waaliwo entikko empya ey’ababuulizi 24,926 era okwo kwali kweyongerayongera kwa babuulizi basatu ku buli kikumi mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2011. Okutwalira awamu, abantu 40,396 be baayigirizibwanga Bayibuli buli mwezi era ng’okutwalira awamu buli mubuulizi yayigirizanga omuyizi wa Bayibuli 1.
Uganda: Twatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 5,580 abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu Agusito. Omwaka gw’obuweereza we gwaggwerako waaliwo okweyongerayongera kwa babuulizi mukaaga ku buli kikumi. Okutwalira awamu abantu 14,154 be baayigirizibwanga Bayibuli buli mwezi, era nga kuno kwali kweyongerayongera kwa bayizi kkumi ku buli kikumi. Nga kya ssanyu nnyo okwenyigira mu mulimu guno ogw’amakungula ag’eby’omwoyo!—Luk. 10:2.