Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 13
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 13
Oluyimba 38 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 12 ¶7-13 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Isaaya 52-57 (Ddak. 10)
Na. 1: Isaaya 56:1-12 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Obwesigwa Peetero Bwe Yalaga Butuyigiriza Ki?—Yok. 6:68, 69 (Ddak. 5)
Na. 3: Bayibuli Ekkiriza Okuwasa Abakazi Abasukka mu Omu?—rs-E lup. 250 ¶1–lup. 251 ¶2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza—Ekitundu 1. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 56, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 57, akatundu 2.
Ddak. 10: Katonda y’Akuza. (1 Kol. 3:6) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2011, olupapula 55, akatundu 1-2, n’olupapula 138, akatundu 3-4. Saba abawuliriza boogere ebyo bye bayize.
Ddak. 10: “Kola Kati Enteekateeka ez’Okugaziya ku Buweereza Bwo.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba omulabirizi w’obuweereza ayogere enteekateeka ezikoleddwa ezikwata ku nkuŋŋaana ez’okugenda okubuulira mu mwezi gwa Maaki, Apuli, ne Maayi.
Oluyimba 107 n’Okusaba