Oluyimba 117
Tulina Okuyigirizibwa
Printed Edition
1. Mujje n’essanyu, muyige ku Yakuwa;
“’Mazzi g’obulamu,” muganywenga.
Eby’okuyiga biva eri ye.
Abayala bonna bakkusibwa.
2. Tukuŋŋaanenga ’wamu obutayosa,
Tuyigirizibwe ebigwana.
Nga tuli wamu n’ab’oluganda,
Ka tunywezebwenga mu mazima.
3. Nga kizzaamu amaanyi okuwulira
Ebyogerwa ’bantu ba Katonda!
Tubenga nabo obutayosa.
Tubenga nabo buli kiseera.
(Era laba Beb. 10:24, 25; Kub. 22:17.)