OLUYIMBA 86
Twetaaga Okuyigirizibwa
Printed Edition
1. Mujje n’essanyu, muyige ku Yakuwa;
’Mazzi g’obulamu muganywenga.
Eby’okuyiga, ye y’abituwa.
Abayala bonna bakkusibwa.
2. Tukuŋŋaanenga ’watali kuddirira,
Tuyigirizibwe ebigwana.
Nga tuli wamu n’ab’oluganda,
Ka tunywezebwenga mu mazima.
3. Nga kizzaamu amaanyi okuwulira
Ebyogerwa ’bantu ba Katonda!
Tubenga nabo obutayosa;
Tubenga nabo buli kiseera.
(Laba ne Beb. 10:24, 25; Kub. 22:17.)