Kola Kati Enteekateeka ez’Okugaziya ku Buweereza Bwo
1. Ekiseera ky’Ekijjukizo kituwa kakisa ki, era tuyinza kukyetegekera tutya?
1 Buli mwaka ekiseera ky’Ekijjukizo kituwa akakisa ‘ak’okutendereza ennyo Yakuwa.’ (Zab. 109:30, NW) Onoogaziya ku buweereza bwo mu mwezi gwa Maaki ng’emu ku ngeri ey’okulagamu nti osiima Katonda eyatuwa ekinunulo? Bwe kiba kityo, tandikirawo kati okukola enteekateeka.—Nge. 21:5.
2. Ggwe wawulira otya era abalala baakwatibwako batya essaawa bapayoniya abawagizi ze balina okuwaayo bwe zaakendeezebwako mu Apuli?
2 Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi: Omwaka oguwedde waaliwo essanyu lingi mu bibiina olw’okukimanya nti essaawa bapayoniya abawagizi ze balina okuwaayo zaali zikendeezeddwako mu mwezi gwa Apuli. Ow’oluganda omu yawandiika nga agamba nti: “Nkyasoma, era kinzibuwalira okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Naye ŋŋenda kusaba okukola essaawa 30 mu mwezi gwa Apuli, kyokka nfube okuweza essaawa 50.” Mwannyinaffe omu alina omulimu ogw’ekiseera kyonna yagamba nti: “Essaawa asatu! Ezo zo nja kusobola okuziweza.” Ekirango kino bwe kyasomebwa, mwannyinaffe omu eyaweerezaako nga payoniya, nga kati aweza emyaka nga 80, yagamba nti: “Kino kye kiseera kye mbadde nnindirira! Yakuwa akimanyi nti nnanyumirwanga nnyo okuweereza nga payoniya.” Ate bo abalala abataasobola kuweereza nga bapayoniya abawagizi beeteerawo ebiruubirirwa eby’okukola ekisingawo mu buweereza bwabwe.
3. Nsonga ki ezandituleetedde okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki, Apuli, ne Maayi?
3 Omwezi gwa Maaki gujja kuba mulungi nnyo okuweererezaamu nga bapayoniya abawagizi kubanga tujja kuddamu okufuna akakisa ak’okuwaayo essaawa 30 oba 50. Okugatta ku ekyo, okutandika n’Olwomukaaga, Maaki 17, tujja kuba ne kaweefube ow’enjawulo ow’okuyita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo ogunaabaawo nga Apuli 5. Bangi abanaagaziya ku buweereza bwabwe bajja kunyumirwa nnyo era bajja kwagala okuweereza nga bapayoniya abawagizi ne mu mwezi gwa Apuli ne Maayi wadde nga kijja kubeetaagisa okuwaayo essaawa 50.
4. Tuyinza tutya okugaziya ku buweereza bwaffe, era biki ebinaavaamu?
4 Mu Kusinza kw’Amaka okw’akawungeezi okunaddako, muyinza okukubaganya ebirowoozo ku ngeri buli omu mu maka gy’ayinza okugaziya ku buweereza bwe mu kiseera ky’Ekijjukizo. (Nge. 15:22) Musabe Yakuwa awe okufuba kwammwe omukisa. (1 Yok. 3:22) Bwe munaagaziya ku buweereza bwammwe, temujja kukoma bukomi ku kwongera kutendereza Yakuwa naye era mujja kwongera okufuna essanyu.—2 Kol. 9:6.