Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 14
WIIKI ETANDIKA MAAYI 14
Oluyimba 121 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 15 ¶11-17 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yeremiya 39-43 (Ddak. 10)
Na. 1: Yeremiya 40:1-10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abantu Basobola Okuyingira mu Kiwummulo kya Katonda?—Beb. 4:10, 11 (Ddak. 5)
Na. 3: Maliyamu Ye Nnyina Katonda?—rs-E lup. 256 ¶3–lup. 257 ¶2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Ku Kino Bonna Kwe Bajja Okutegeerera Nti Muli Bayigirizwa Bange. (Yok. 13:35) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook, ak’omwaka 2012, olupapula 217, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 221, akatundu 1, n’olupapula 221, akatundu 3. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 15: “Beera Mwegendereza ng’Oli mu Buweereza.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu nga kwa kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Nnyonnyola engeri gye muyinza okukozesaamu amagezi agaweereddwa, nga mubuulira mu kitundu kyammwe.
Oluyimba 74 n’Okusaba