Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga MaayI 21
WIIKI ETANDIKA MAAYI 21
Oluyimba 85 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 15 ¶18-21, akas. ku lup. 182 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yeremiya 44-48 (Ddak. 10)
Na. 1: Yeremiya 46:18-28 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Maliyamu Yazaalibwa Talina Kibi?—rs-E lup. 257 ¶3–lup. 258 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Tuyinza Tutya Okusigira “Omwoyo”?—Bag. 6:8 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Bategeeze ebitabo ebinaagabibwa mu mwezi gwa Jjuuni, era olage ekyokulabirako kimu.
Ddak. 15: Abavubuka, Musobola Okuweereza nga Bapayoniya Abawagizi mu Luwummula? Kwogera. Mu bufunze, yogera ku bisaanyizo by’okuweereza nga payoniya omuwagizi ebiri mu katabo Organized olupapula 113 akatundu 1. Oluvannyuma buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abaaweerezaako nga bapayoniya abawagizi mu luwummula. Kubiriza abavubuka okulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu luwummula olunaddako.
Ddak. 10: “Amaka Go Geeteekerateekera Okuwonawo?” Kukubaganya birowoozo.
Oluyimba 41 n’Okusaba