Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 28
WIIKI ETANDIKA MAAYI 28
Oluyimba 83 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 16 ¶1-5 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yeremiya 49-50 (Ddak. 10)
Na. 1: Yeremiya 49:28-39 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Mu Ngeri Ki Erinnya lya Yakuwa gye Liri ‘Ekigo eky’Amaanyi’?—Nge. 18:10 (Ddak. 5)
Na. 3: Maliyamu Yagenda mu Ggulu n’Omubiri Gwe?—rs-E lup. 258 ¶2-3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4, laga ekyokulabirako ku ngeri gye muyinza okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Jjuuni. Bwe muba temulina magazini za Jjuuni, kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe. Kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalimu ennyanjula za magazini ezo.
Ddak. 25: “Abajulirwa ba Yakuwa Booleka Okukkiriza Kwabwe, Ekitundu 2: Ekitangaala Ka Kyake.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu bufunze, kozesa ebyo ebiri mu katundu akasooka okwanjula ekitundu ekyo n’ebiri mu katundu akasembayo okufundikira. Bwe muba temulina vidiyo eno, mukozese ebyo ebiri mu kitabo Proclaimers olupapula 718-723, mwogere ku byaliwo mu myaka egiragiddwa mu kitundu kino.
Oluyimba 93 n’Okusaba