Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 19
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 19
Oluyimba 72 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 21 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Obadiya 1–Yona 4 (Ddak. 10)
Na. 1: Yona 2:1-10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Engeri Okusinza okw’Amazima gye Kusobozesa Abantu Abava mu Mbeera ez’Enjawulo Okubeera Obumu—Zab. 133:1 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Olusuku lwa Katonda Olwogerwako mu Lukka 23:43 Teruyinza Kuba nga Luli Magombe oba mu Ggulu—rs-E lup. 286 ¶1–lup. 287 ¶1 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Bw’Oweereza Awali Obwetaavu Obusingako, Yakuwa Akuwa Emikisa Mingi. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2012, olupapula 114, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 116, akatundu 1; olupapula 151, akatundu 3; olupapula 153, akatundu 1 ne 2; n’olupapula 170, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 171, akatundu 3. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 15: “Weenyigire mu Buweereza mu Bujjuvu—Teweenyooma.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu bufunze, buuza ebibuuzo omubuulizi eyafuna obuyigirize obutono oba ow’ensonyi naye ng’alina omuntu gw’ayigiriza Bayibuli.
Oluyimba 26 n’Okusaba