Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 7
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 7
Oluyimba 62 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 28 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Matayo 1-6 (Ddak. 10)
Na. 1: Matayo 5:21-32 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Biki Ebiyinza Okuleetera Essaala z’Omuntu Obutawulirwa Katonda?—rs-E lup. 293 ¶3–lup. 294 ¶3 (Ddak. 5)
Na. 3: Yakuwa Okuba ‘Omugabo Gwo,’ Kitegeeza Ki?—Kubal. 18:20 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Jjanwali. Kukubaganya birowoozo. Kozesa obutikitiki 30 oba 60 onnyonnyole ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma ng’okozesa omutwe oguli kungulu ku Omunaala gw’Omukuumi, buuza ab’oluganda bibuuzo ki na byawandiikibwa ki bye muyinza okukozesa nga mugaba magazini eyo. Kola kye kimu ne ku Awake! Era obudde bwe bubaawo funayo ekitundu ekirala kimu mu Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! okole kye kimu. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Ekizimbe ky’Obwakabaka Ekiyonjo Kiweesa Yakuwa Ekitiibwa. Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Yakuwa Katonda mutukuvu, n’olwekyo abaweereza be basaanidde okufaayo ennyo ku buyonjo. (Kuv. 30:17-21; 40:30-32) Bwe tukuuma ekifo kyaffe eky’okusinzizaamu nga kiyonjo era nga kirabika bulungi, tuweesa Yakuwa ekitiibwa. (1 Peet. 2:12) Wa ekyokulabirako eky’omu kitundu kyammwe oba ekimu ku ebyo ebiri mu bitabo byaffe ekiraga engeri endabika y’Ekizimbe ky’Obwakabaka gye yawaamu obujulirwa. Saba ow’oluganda akola ku nteekateeka z’okuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka ayogere enteekateeka ekoleddwa ekwata ku kuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe kyammwe. Kubiriza bonna okuwagira enteekateeka eyo.
Oluyimba 127 n’Okusaba