Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 25
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 25
Oluyimba 111 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 35 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Makko 5-8 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: “Kiba Kikwetaagisa Okulekera Awo?” Kukubaganya birowoozo.
Ddak. 10: Obubaka Bwe Tulina Okulangirira—‘Okuwa Obujulirwa ku Yesu.’ Kwogera okw’ebbugumu nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, okuva ku mutwe omutono oguli ku lupapula 275 okutuuka ku nkomerero y’olupapula 278.
Ddak. 15: Yakuwa Atuwa Amaanyi Tusobole Okubuulira. (Baf. 4:13) Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri oba basatu ababuulira n’obunyiikivu wadde nga batawanyizibwa obulwadde. Kusoomoozebwa ki kwe boolekagana nakwo? Kiki ekibayamba obutaggwamu maanyi? Ekibiina kibayambye kitya? Baganyuddwa batya mu kubuulira obutayosa?
Oluyimba 42 n’Okusaba