Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Febwali 25, 2013. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero buli wiiki.
1. Lwaki Yesu yagamba nti “abakungubaga” balina essanyu? (Mat. 5:4) [Jan. 7, w09 2/15 lup. 6 kat. 6]
2. Mu ssaala ey’okulabirako Yesu gye yayigiriza abayigirizwa be, yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Totuleka kukemebwa”? (Mat. 6:13) [Jan. 7, w04 2/1 lup. 26 kat. 13]
3. Lwaki Yesu yagamba nti abayigirizwa be tebandimalirizza kitundu kye baali babuuliramu “ng’Omwana w’omuntu tannatuuka”? (Mat. 10:23) [Jan. 14, w10 9/15 lup. 10 kat. 12; w87-E 8/1 lup. 8 kat. 6]
4. Bintu ki ebibiri olugero lwa Yesu olukwata ku kasigo ka kalidaali bye lutuyamba okutegeera? (Mat. 13:31, 32) [Jan. 21, w08 7/15 lup. 17-18 kat. 3-8]
5. Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Okuggyako nga mukyuse ne muba ng’abaana abato, temuliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu”? (Mat. 18:3) [Jan. 28, w07-E 2/1 lup. 9-10 kat. 3-4]
6. Kiki ekyaleetera Yuda okunakuwala? (Mat. 27:3-5) [Feb. 11, w08 1/15 lup. 31 kat. 3]
7. Lwaki Yesu ayitibwa “Mukama wa ssabbiiti”? (Mak. 2:28) [Feb. 18, w08 2/15 lup. 28 kat. 7]
8. Abantu bwe baamugamba nti nnyina ne baganda be bamunoonya, lwaki Yesu yabaddamu nga bwe kiragibwa mu Makko 3:31-35, era ekyo kituyigiriza ki? [Feb. 18, w08 2/15 lup. 29 kat. 5]
9. Lwaki Yesu yayita mu mitendera ebiri ng’azibula amaaso ga muzibe nga bwe kiragibwa mu Makko 8:22-25, era ekyo kituyigiriza ki? [Feb. 25, w00 3/1 lup. 9 kat. 7; w08 2/15 lup. 29 kat. 2]
10. Kiki kye tuyigira ku ebyo Yesu bye yayogera oluvannyuma lwa Peetero okumunenya, nga bwe kiragibwa mu Makko 8:32-34? [Feb. 25, w08 2/15 lup. 29 kat. 6]