Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 4
WIIKI ETANDIKA MAAKI 4
Oluyimba 19 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 36 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Makko 9-12 (Ddak. 10)
Na. 1: Makko 11:19–12:11 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omuntu bw’Amala Okufa, Abonerezebwa olw’Ebibi Bye Yakola ng’Akyali Mulamu?—rs-E lup. 300 ¶2-6 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Omuntu Bwe Yeewaayo eri Katonda Afuna Essanyu—Bik. 20:35 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Maaki. Kukubaganya birowoozo. Mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga: Ku wiikendi ze tunaagabiramu obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo, biki ebinaasinziirwangako okugaba magazini? Nga tumaze okugabira omuntu akapapula, kiki kye tuyinza okwogera tusobole okumuweerako magazini? Wadde ng’ennyanjula ze tujja okukozesa nga tugaba magazini zirimu okubuuza ekibuuzo n’okusoma ekyawandiikibwa, tusobola tutya okuzifunzaako? Ng’okozesa magazini ze mwasembayo okufuna, laga ebyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okugabamu magazini zombi nga tugabirako n’akapapula akayita abantu.
Ddak. 10: Ganyulwa mu Katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku aka 2013. Kukubaganya birowoozo. Mu bufunze, mukubaganye ebirowoozo ku kyawandiikibwa ky’omwaka nga mukozesa ebyo ebiri ku lupapula 3-4 ne ku kitundu ekiri ku lupapula 5 ekirina omutwe, “Engeri y’Okukozesaamu Akatabo Kano.” Oluvannyuma saba abawuliriza boogere ekiseera kye bassaawo okusomeramu ekyawandiikibwa eky’olunaku n’engeri gye baganyuddwamu. Fundikira ng’okubiriza bonna okusomanga ekyawandiikibwa ekya buli lunaku.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina ne “Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira.”
Oluyimba 119 n’Okusaba