LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/13 lup. 2
  • Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 2/13 lup. 2

Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira

Kenya: Mu Agusito, baatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 25, 417, era nga kino kyali tekibangawo mu byafaayo bya Kenya. Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2012, abantu 1,303 be baabatizibwa era magazini 3,335,791 ze zaagabibwa. Okwo kwali kweyongerayongera kwa bitundu 3 ku buli kikumi.

Tanzania: Mu Agusito, baatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 16,476. Okwo kwali kweyongerayongera kwa babuulizi 3 ku buli kikumi era abantu 862 be baabatizibwa. Okutwalira awamu, buli mubuulizi yalina omuyizi wa Bayibuli omu.

Uganda: Mu Agusito, twatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 5,924. Okwo kwali kweyongerayongera kwa babuulizi 13 ku buli kikumi bw’ogeraageranya ne Agusito w’omwaka oguwedde. Okweyongerayongera okwo kwali kwa mulundi gwa kusatu ogw’omuddiriŋŋanwa. Ate era twatuuka ku ntikko empya eya bapayoniya aba bulijjo 671. Ebyo byonna biraga nti ababuulizi beeyongedde okuba “n’omutima ogwagala okukola” nga bwe tukubirizibwa mu Nekkemiya 4:6, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share