LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/13 lup. 1
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Yona

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Yona
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Similar Material
  • Yayigira ku Nsobi ze
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yayiga Okuba Omusaasizi
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Gezaako Okutunuulira Abalala nga Yakuwa bw’Abatunuulira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
See More
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 4/13 lup. 1

Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Yona

1. Ngeri ki ennungi Yona ze yalina?

1 Ndowooza ki gy’olina ku nnabbi Yona? Abamu balowooza nti yali mutiitiizi oba mujeemu. Naye Yona yayoleka obuwombeefu, obuvumu, n’omwoyo gw’okwefiiriza. Tuyinza tutya ‘okugoberera ekyokulabirako’ kya Yona oba okukoppa engeri ze ennungi?—Yak. 5:10.

2. Bwe kituuka ku buwoombeefu, tuyinza tutya okukoppa Yona?

2 Obuwombeefu: Yakuwa bwe yatuma Yona e Nineeve, mu kusooka Yona yatya era n’asalawo addukire mu kibuga ekirala. Ekyo tekyewuunyisa kubanga Abaasuli baali bakambwe nnyo, era Nineeve kyali kiyitibwa “ekibuga eky’omusaayi.” (Nak. 3:1-3) Wadde kyali kityo, Yakuwa bwe yakangavvula Yona, yayoleka obuwombeefu n’akkiriza okugenda mu kibuga ekyo ng’atumiddwa omulundi ogw’okubiri. (Nge. 24:32; Yon. 3:1-3) Wadde nga yasooka kutya, yamala n’akola Yakuwa kye yali ayagala. (Mat. 21:28-31) Naffe tusaanidde okuba abamalirivu okubuulira amawulire amalungi wadde nga tukangavuddwa oba ng’ekitundu kye tubuuliramu si kyangu.

3. Lwaki kitwetaagisa okuba abavumu n’okwefiiriza okusobola okukola omulimu gw’okubuulira?

3 Obuvumu n’Okwefiiriza: Yona bwe yalaba nti okuddukira e Talusiisi kyali kigenda kuviirako abo be yali nabo mu lyato okufiirwa obulamu bwabwe, yasalawo okuwaayo obulamu bwe. (Yon. 1:3, 4, 12) Bwe yatuuka e Nineeve, yayingira mu kibuga ekyo munda oboolyawo ng’anoonya we yanditandikidde okulangirira omusango Yakuwa gwe yali akisalidde. Ebintu ng’ebyo tebikoleka mutiitiizi! (Yon. 3:3, 4) Ate kiri kitya eri ffe leero? Naffe Katonda asobola okutuyamba okuba abavumu ne tuwa obujulirwa wadde nga tuziyizibwa. (Bik. 4:29, 31) Kitwetaagisa okwefiiriza okusobola okuwaayo ebiseera byaffe n’okukozesa ebintu byaffe mu mulimu gw’okubuulira.—Bik. 20:24.

4. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku kyokulabirako ekirungi bannabbi ba Yakuwa kye baatuteerawo?

4 Buli lw’oba osoma ebikwata ku omu ku bannabbi ba Yakuwa, ojja kuganyulwa nnyo singa okuba akafaananyi ng’oli mu mbeera gye yalimu. Weebuuze: ‘Nze nnandikoze ki? Nnyinza ntya okukoppa engeri ze ennungi?’ (Beb. 6:11, 12) Ebitundu ebirala nga kino bijja kufulumiranga mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka nga birimu bye tuyigira ku bannabbi ba Yakuwa abaali abeesigwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share