Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 15
WIIKI ETANDIKA APULI 15
Oluyimba 120 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 42 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Lukka 13-17 (Ddak. 10)
Na. 1: Lukka 16:16-31 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Eky’Okuba nti Tetutuukiridde Kitegeeza nti Tetuli ba Mugaso eri Katonda?—Zab. 103:8, 9, 14; Bag. 6:9 (Ddak. 5)
Na. 3: Abantu Bonna Baana ba Katonda?—rs-E lup. 303 ¶3–lup. 304 ¶4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kukubaganya birowoozo.
Ddak. 10: Engeri y’Okugaziyaamu Obuweereza Bwo—Ekitundu 2. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 112, akatundu 3, okutuuka ku lupapula 114, akatundu 1. Saba payoniya owa bulijjo omu oba babiri boogere enkyukakyuka ze baalina okukola okusobola okuweereza nga bapayoniya.
Ddak. 10: Obuulira ng’Oli ku Mulimu? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku bibuuzo bino. (1) Lwaki kirungi bakozi banno okukimanya nti oli Mujulirwa wa Yakuwa? (2) Osobola otya okubamanyisa nti oli Mujulirwa wa Yakuwa? (3) Bw’oba oli ku mulimu, ddi lw’oyinza okufuna akakisa okubuulira? (4) Bwe kiba kisoboka, lwaki kiba kirungi okuba ne Bayibuli awamu n’ebitabo ebiginnyonnyola mu kifo w’okolera? (5) Lwaki si kirungi kubuulira ekiseera kiwanvu mu budde obw’okukola? (6) Birungi ki by’ofunye mu kubuulira ng’oli ku mulimu?
Oluyimba 45 n’Okusaba