Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 9
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 9
Oluyimba 37 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 11, ekibuuzo 4 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Abakkolinso 10-16 (Ddak. 10)
Na. 1: 1 Abakkolinso 14:7–25 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Kiki Omwonoonyi ky’Alina Okukola Okusobola Okusonyiyibwa Yakuwa?—2 Byom. 33:12, 13; Is. 55:6, 7 (Ddak. 5)
Na. 3: Lwaki Ebyo Bye Tusoma mu Yokaana 9:1, 2 Tebikakasa nti Abantu Bwe Bafa Babbulukukira mu Bulamu Obulala?—rs-E lup. 319 ¶2– lup. 320 ¶2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?—Ekitundu 1. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku tulakiti Obulamu Bwammwe akatundu 1-9. Siima nnyo abavubuka abafuba okukulembeza Obwakabaka.
Ddak. 10: Ebirungi Ebivudde mu Kukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi. Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ebirungi bye bafunye mu kukozesa brocuwa Amawulire Amalungi okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okukozesaamu brocuwa eno nga tuzzeeyo okukyalira omuntu gwe twawa magazini.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2013, olupapula 7.
Ddak. 10: “Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Amosi.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 96 n’Okusaba