Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 20
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 20
Oluyimba 109 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 14 ¶16-20, akas. ku lup. 147 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyamateeka 7-10 (Ddak. 10)
Na. 1: Ekyamateeka 9:15-29 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omuntu Eyali Atuukiridde Yatuuka Atya Okwonoona?—rs-E lup. 371 ¶2–lup. 372 ¶3 (Ddak. 5)
Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Bwe Bujja Okumalawo Ebizibu Ebiriwo mu Nsi—td 16D (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu.”—2 Tim. 4:2
Ddak. 15: “Okunnyonnyola Obunnabbi Obukwata ku Mwaka 1914.” Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ku buli kibuuzo ekiweereddwa.
Ddak. 15: Ekinaatuyamba Okunnyonnyola Obunnabbi Obukwata ku Mwaka 1914. Sooka olage ekyokulabirako kya ddakiika 7 ng’omubuulizi akozesa ekipande ekiri ku lupapula 11 olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2014, okulaga omuyizi we nti obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 4 bukwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Saba abawuliriza boogere ensonga lwaki ekyokulabirako ekyo kibadde kirungi nnyo. Ng’ofundikira, soma Okubikkulirwa 12:10, 12 era osabe abawuliriza boogere ensonga lwaki okukimanya nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914, kitukubiriza okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu.
Oluyimba 133 n’Okusaba