Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 10
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 10
Oluyimba 99 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 15 ¶20-23, akas. ku lup. 157 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyamateeka 19-22 (Ddak. 10)
Na. 1: Ekyamateeka 22:20-30 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Bwe Tukola Ebintu Ebibi, Enkolagana Yaffe ne Katonda Eyonooneka—rs-E lup. 374 ¶2–lup. 375 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Abakristaayo Balina Okussa Ekitiibwa mu Nteekateeka y’Obukulembeze—td-17B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Buuza Omulabirizi w’Obuweereza Ebibuuzo Bino: Obuvunaanyizibwa bwo buzingiramu ki? Oba na kigendererwa ki ng’okyalidde ekibinja ky’obuweereza? Biki ababuulizi abali mu kibinja ky’oba okyalidde bye balina okukola okusobola okuganyulwa? Omubuulizi bw’akubuuza ekibuuzo ekikwata ku kukubuulira, omuyamba otya?
Ddak. 20: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okufaayo ku Oyo Gwe Tuba Tubuulira.” Kukubaganya birowoozo. Bwe mumala okukubaganya ebirowoozo ku kitundu kino, laga ebyokulabirako bibiri. Mu kisooka, omubuulizi agaba emu ku tulakiti ezigabibwa omwezi guno naye nga tafaayo ku oyo gw’abuulira. Oluvannyuma ddamu ekyokulabirako kye kimu, naye nga ku luno omubuulizi alaga nti afaayo ku oyo gw’abuulira.
Oluyimba 84 n’Okusaba