Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 12
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 12
Oluyimba 114 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 18 ¶20-24, akas. ku lup. 188 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yoswa 21-24 (Ddak. 8)
Na. 1: Yoswa 24:14-21 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Ebiseera by’ab’Abamawanga Byaggwaako Ddi?—td-21A (Ddak. 5)
Na. 3: Yakuwa Ye Mutonzi ow’Amaanyi—nwt-E lup. 6 ¶4–lup. 7 ¶1 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Weereza Mukama waffe n’obuwombeefu.’—Bik. 20:19.
Ddak. 10: Weereza Mukama Waffe n’Obuwombeefu. Kukubaganya birowoozo. Musome Ebikolwa 20:19, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: (1) Omuntu “okuweereza” mukama we kizingiramu ki? (2) Tuyinza tutya okuweereza Mukama waffe? (3) Obuwombeefu kye ki? (4) Obuwombeefu butuyamba butya okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe?
Ddak. 20: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuddamu Omuntu Atukambuwalidde.” Kukubaganya birowoozo. Bwe mumala okukubaganya ebirowoozo ku kitundu kino, laga ebyokulabirako bibiri ebituukirawo. Mu kisooka, omubuulizi addamu bubi omuntu amukambuwalidde, ate mu ky’okubiri omubuulizi amuddamu bulungi. Kubiriza bonna okukolera ku magezi agaweereddwa wansi w’omutwe, “Mu Mwezi Guno Gezaako Bino.”
Oluyimba 76 n’Okusaba