Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 2
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 2
Oluyimba 109 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 19 ¶18-23, akas. ku lup. 198 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyabalamuzi 8-10 (Ddak. 8)
Na. 1: Ekyabalamuzi 8:13-27 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Ani Yawandiika Bayibuli?—nwt-E lup. 10 ¶1-5 (Ddak. 5)
Na. 3: Abakristaayo Bonna ab’Amazima Bateekwa Okubuulira—td-23A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Weereza Mukama waffe n’obuwombeefu.’—Bik. 20:19.
Ddak. 10: Okugaba Magazini mu Febwali. Kukubaganya birowoozo. Sooka olage ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa ku lupapula luno. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku buli nnyanjula.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Twakola Tutya? Kukubaganya birowoozo. Saba ababuulizi boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu kukolera ku magezi agaaweebwa mu kitundu ekirina omutwe, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuddamu Omuntu Atukambuwalidde.” Basabe boogere ebirungi ebyavaamu.
Luyimba lupya, “Tuwe Obuvumu” n’Okusaba
Mujjukizibwa okussaako oluyimba olupya ab’oluganda baluwulirize omulundi gumu, oluvannyuma muyimbire wamu.