Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 16
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 16
Oluyimba 80 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 20 ¶8-15 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyabalamuzi 15-18 (Ddak. 8)
Na. 1: Ekyabalamuzi 16:13-24 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Nsonga Ki Enkulu Ezoogerwako mu Bayibuli?—nwt-E lup. 12 ¶1-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Bwe Tubuulira Tetuvunaanibwa Musaayi gw’Abantu—td-23C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Nyiikirira Ebikolwa Ebirungi’!—Tit. 2:14.
Ddak. 15: Weeteeketeeke Okubuulira Amawulire Amalungi n’Obunyiikivu. Kukubaganya birowoozo. Lwaki okusaba Yakuwa kye tulina okusooka okukola bwe tuba tweteekerateekera obuweereza? (Zab. 143:10; Bik. 4:31) Ng’oggyeeko okusaba, kiki ekirala kye tulina okukola? (Ezer. 7:10) Bwe tumala okweteekateeka mu ngeri eyo, biki bye tuyinza okulowoozaako nga tusalawo ebitabo bye tunaakozesa n’ebintu ebirala ebyetaagisa bye tunaateeka mu nsawo zaffe? Bwe tweteekateeka obulungi tuganyulwa tutya? (Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa, Jjulaayi 15, 2008, lup. 10, kat. 9.) Weeteekateeka otya ng’ogenda okubuulira? Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi yeeteekateeka okugenda okubuulira; yejjukanya ebiri mu tulakiti, magazini, oba brocuwa z’agenda okugaba. Ateekateeka bulungi ensawo ye era akakasa nti buli kimu mwekiri. Kiggumize nti kikulu nnyo buli mubuulizi okugenda okubuulira nga yeeteeseteese bulungi. (2 Tim. 3:17)
Ddak. 15: “Mu Kiseera ky’Ekijjukizo, Onooba Munyiikivu nga Yakuwa ne Yesu?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Buli omu muwe akapapula akayita abantu ku Kijjukizo era mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebikalimu. Mu bufunze laga ekyokulabirako ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4.
Oluyimba 30 n’Okusaba