Okwejjukanya
Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika Febwali 23, 2015.
Ebibuga eby’okuddukiramu ebyaliwo mu Isiraeri byali byawukana bitya ku bifo amadiini ag’ekikaafiiri bye gassaawo okukuumiramu abamenyi b’amateeka abaabanga badduse mu bitundu byabwe? (Yos. 20:2, 3) [Jan. 5, w10-E 11/1 lup. 15 kat. 4-6]
Lwaki Yoswa yayogera n’obuvumu ebigambo ebiri mu Yoswa 23:14, era lwaki naffe tuli bakakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa byonna bijja kutuukirira? [Jan. 12, w07 11/1 lup. 26 kat. 19]
Lwaki ekika kya Yuda kye kyasooka okuweebwa obusika mu nsi ensuubize? (Balam. 1:2, 4) [Jan. 19, w05 3/1 lup. 8 kat. 5]
Lwaki Balaki yali ayagala nnyo okugenda ne nnabbi Debola mu lutalo? (Balam. 4:8) [Jan. 19, w05 3/1 lup. 9 kat. 4]
Erinnya Gidiyoni lye yatuuma ekyoto kye yazimba liraga ki, era ekyo kituyigiriza ki? (Balam. 6:23, 24) [Jan. 26, w14 2/15 lup. 22-23 kat. 9]
Kiki kye tuyigira ku ngeri Gidiyoni gye yaddamu Abeefulayimu abaali bamuyombesa? (Balam. 8:1-3) [Feb. 2, w05-E 7/15 lup. 16 kat. 4]
Yefusa bwe yali yeeyama, yali alowooza ku kuwaayo muntu nga ssaddaaka? (Balam. 11:30, 31) [Feb. 9, w05 3/1 lup. 10 kat. 1]
Okusinziira ku Ekyabalamuzi 11:35-37, kiki ekyasobozesa muwala wa Yefusa okutuukiriza obweyamo bwa kitaawe? [Feb. 9, w11 12/15 lup. 20-21 kat. 15-16]
Eky’okuba nti mu kiseera nga tewaliiwo kabaka mu Isiraeri ‘buli muntu yakolanga ekyo ekyabanga ekirungi mu maaso ge,’ kiraga nti tewaaliwo bulagirizi buva eri Katonda? Nnyonnyola. (Balam. 17:6) [Feb. 16, w05 3/1 lup. 11 kat. 6]
Eky’okuba nti Abaisiraeri baawangulwa Ababenyamini emirundi ebiri wadde nga buli mulundi baasokanga kusaba, kituyigiriza ki? (Balam. 20:14-25) [Feb. 23, w11 9/15 lup. 32 kat. 2-5]