Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 23
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 23
Oluyimba 21 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
cl sul. 20 ¶16-21, akas. ku lup. 207 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyabalamuzi 19-21 (Ddak. 8)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Nyiikirira Ebikolwa Ebirungi’!—Tit. 2:14.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Nyiikirira Okusinza okw’Amazima nga Yesu bwe Yakola. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 15, 2013, olupapula 8, akatundu 2, n’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 15, 2010, olupapula 9-11, akatundu 12-16. Kikkaatirize nti okubuulira ‘kikolwa kirungi’ era buli Mukristaayo asaanidde okugitwala nga nkizo. (Tit. 2:14) Yogera ku ngeri okumanya amazima gye kitukubirizaamu okubuulira n’obunyiikivu era n’okuyigiriza abantu Bayibuli. Beebaze olw’okuba abanyiikivu mu kukola ebikolwa ebirungi.
Ddak. 10: “Buulira Amazima Agakwata ku Yesu n’Obunyiikivu.” Kukubaganya birowoozo. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi akozesa ebyo ebiri mu “Embeera 1,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 15, 2014, olupapula 8 akatundu 8, era akozese n’ekyokulabirako ekiri ku lupapula 9 akatundu 13.
Oluyimba 5 n’Okusaba