Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Maaki ne Apuli: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Maayi ne Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? oba emu ku tulakiti zino wammanga: Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?, Ddala Ani Afuga Ensi?, Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?, oba Okubonaabona Kuliggwaawo?
◼ Omukolo gw’Ekijjukizo gujja kubaawo ku Lwokutaano, Apuli 3, 2015. Bwe muba nga ku Lwokutaano mubeera n’enkuŋŋaana, zirina okukyusibwa ziteekebwe ku lunaku olulala olwa wiiki singa tewabaawo kibiina kirala kigenda kukozesa Kizimbe kya Bwakabaka. Kino bwe kiba tekisoboka, ow’oluganda akwanaganya akakiiko k’abakadde ayinza okukyusa ebitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza naddala ebyo ebisinga okukwata ku kibiina kyammwe, ne muba nabyo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olulala mu mwezi ogwo.