Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira
Uganda: Lipoota y’obuweereza eya Agusito n’ey’omwaka gw’obuweereza ogwa 2014, ziraga emikisa gya Yakuwa n’obunyiikivu bw’ababuulizi mu buweereza. Mu mwezi gwa Agusito twatuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi 6,737. Ate era twatuuka ku ntikko empya mu miwendo gya magazini ezaagabibwa n’abayizi ba Bayibuli. Okutwalira awamu, mu mwaka gw’obuweereza 2014 waaliwo okweyongerayongera kwa babuulizi 6 ku buli kikumi, abayizi ba Bayibuli 12 ku buli kikumi, bapayoniya abawagizi 35 ku buli kikumi, era abantu abaabatizibwa baali 566.