EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | NEKKEMIYA 9-11
Abaweereza ba Katonda Abeesigwa Bawagira Enteekateeka Ze
Abantu ba katonda baawagira okusinza okw’amazima mu ngeri ezitali zimu
Abayisirayiri beeteekateeka era ne bakwata Embaga ey’Ensiisira mu ngeri entuufu
Buli lunaku abantu baakuŋŋaananga okuwuliriza ng’Amateeka gasomebwa, era ekyo kyabaleeteranga essanyu
Abantu beenenya ebibi byabwe, era ne basaba Katonda abawe emikisa
Abantu bakkiriziganya okweyongera okuwagira okusinza okw’amazima
Okuwagira okusinza okw’amazima kwali kuzingiramu na bino:
Okuwasa oba okufumbirwa abo bokka abasinza Yakuwa
Okuwangayo ssente
Okukwatanga Ssabbiiti
Okuleetanga enku ez’okukozesa ku kyoto
Okuwangayo eri Yakuwa ebibala ebibereberye n’ebisolo ebibereberye