EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 6-10
Eseza Yali Ayagala Nnyo Yakuwa n’Abantu Be
Eseza yali muvumu, era yeewaayo okulwanirira abantu ba Yakuwa
Eseza ne Moluddekaayi baalina obukuumi. Naye ekiragiro kya Kamani eky’okutta Abayudaaya bonna kumpi kyali kituuse buli wamu mu ttwale ly’obwakabaka
Eseza yaddamu okuteeka obulamu bwe mu kabi n’agenda eri kabaka nga tayitiddwa. Yanakuwalira nnyo abantu be era n’asaba kabaka asazeemu ekiragiro ekyali kiyisiddwa
Etteeka eryabanga liyisiddwa mu linnya lya kabaka lyali terisobola kusazibwamu. N’olwekyo kabaka yawa Eseza ne Moluddekaayi obuyinza okuyisa etteeka eddala
Yakuwa yasobozesa abantu okuwangula abalabe baabwe
Ekiragiro eky’okubiri ekyali kikkiriza Abayudaaya okwerwanako kyayisibwa
Ababaka baatumibwa mangu mu buli kanyomero k’obwakabaka, era Abayudaaya ne beetegekera olutalo
Abantu bangi baalaba nga Katonda alwanirira abantu be era ne batandika okweyita Abayudaaya