Maaki 7-13
ESEZA 6-10
- Oluyimba 131 n’Okusaba 
- Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera) 
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
- “Eseza Yali Ayagala Nnyo Yakuwa n’Abantu Be”: (Ddak. 10) - Es 8:3, 4—Wadde nga Eseza yalina obukuumi, yawaayo obulamu bwe ku lw’abalala (ia 143 ¶24-25) 
- Es 8:5—Eseza yakozesa amagezi ng’ayogera ne Akaswero (w06 3/1 7 ¶8) 
- Es 8:17—Abantu bangi ab’amawanga amalala baakyuka ne batandika okweyita Abayudaaya (w06 3/1 7 ¶3) 
 
- Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8) - Es 8:1, 2—Obunnabbi Yakobo bwe yawa ng’anaatera okufa obukwata ku Benyamini ‘okugabanya omunyago akawungeezi,’ bwatuukirizibwa butya? (ia 142 akasanduuko) 
- Es 9:10, 15, 16—Wadde ng’Abayudaaya baali bakkiriziddwa okunyaga ebintu by’abalabe baabwe, lwaki tebaakikola? (w06 3/1 7 ¶4) 
- Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa? 
- Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza? 
 
- Okusoma Bayibuli: Es 8:1-9 (Ddak. 4 oba obutawera) 
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
- Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era muzikubaganyeeko ebirowoozo. Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini.” 
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
- “Yaniriza Abagenyi Baffe”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ku birungi ebyavaamu bwe baayaniriza abagenyi abajja ku mukolo gw’Ekijjukizo omwaka oguwedde. Laga ekyokulabirako ekyaliwo ddala. 
- Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 10 ¶12-21, eby’okulowoozaako ku lup. 91 (Ddak. 30) 
- Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3) 
- Oluyimba 147 n’Okusaba