EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 6-10
Eseza Yali Ayagala Nnyo Yakuwa n’Abantu Be
Eseza yali muvumu, era yeewaayo okulwanirira abantu ba Yakuwa
- Eseza ne Moluddekaayi baalina obukuumi. Naye ekiragiro kya Kamani eky’okutta Abayudaaya bonna kumpi kyali kituuse buli wamu mu ttwale ly’obwakabaka 
- Eseza yaddamu okuteeka obulamu bwe mu kabi n’agenda eri kabaka nga tayitiddwa. Yanakuwalira nnyo abantu be era n’asaba kabaka asazeemu ekiragiro ekyali kiyisiddwa 
- Etteeka eryabanga liyisiddwa mu linnya lya kabaka lyali terisobola kusazibwamu. N’olwekyo kabaka yawa Eseza ne Moluddekaayi obuyinza okuyisa etteeka eddala 
Yakuwa yasobozesa abantu okuwangula abalabe baabwe
- Ekiragiro eky’okubiri ekyali kikkiriza Abayudaaya okwerwanako kyayisibwa 
- Ababaka baatumibwa mangu mu buli kanyomero k’obwakabaka, era Abayudaaya ne beetegekera olutalo 
- Abantu bangi baalaba nga Katonda alwanirira abantu be era ne batandika okweyita Abayudaaya