EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZEEKYERI 32-34
Omukuumi Yalina Obuvunaanyizibwa bwa Maanyi
Ku bbugwe w’ebibuga kwabangako abakuumi abaalabulanga abantu ku kabi konna akaabanga kajja. Yakuwa yalonda Ezeekyeri okuba “omukuumi eri ennyumba ya Isirayiri.”
Ezeekyeri yalabula Abayisirayiri nti bandizikiriziddwa singa tebaalekera awo kukola bintu bibi
Bubaka ki obuva eri Yakuwa bwe tubuulira abantu leero?
Ezeekyeri bwe yandirabudde abantu, yandiwonyezza obulamu bwabwe n’obubwe
Kiki ekyanditukubirizza okubuulira abantu obubaka Yakuwa bw’atuwadde?