LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Ssebutemba lup. 2
  • Lwaki Okusinza Okulongoofu Okutwala nga kwa Muwendo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Okusinza Okulongoofu Okutwala nga kwa Muwendo?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • “Lino Lye Tteeka lya Yeekaalu”
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • “Yakuwa Katonda Wo gw’Olina Okusinza”
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • “Katonda Yasiima” Ebirabo Byabwe
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Ssebutemba lup. 2

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Lwaki Okusinza Okulongoofu Okutwala nga Kwa Muwendo?

Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna kwawa Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse essuubi nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo. Mu nnaku zino ez’enkomerero okusinza okulongoofu ‘kunywezeddwa waggulu w’ensozi,’ era ffe bamu ku abo abava mu mawanga gonna abeegasse ku kusinza okulongoofu. (Is 2:2) Otera okufumiitiriza ku nkizo gy’olina ey’okumanya Yakuwa n’okumuweereza?

EMIKISA GYE TUFUNA MU KUSINZA OKULONGOOFU:

  • Ow’oluganda asoma Bayibuli

    Tufuna emmere nnyingi ey’eby’omwoyo etuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu mu bulamu, amagezi agatuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu, n’essuubi ekkakafu.​—Is 48:17, 18; 65:13; Bar 15:4

  • Tulina oluganda olw’ensi yonna.​—Zb 133:1; Yok 13:35

  • Tulina enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda omulimu ogutuleetera essanyu.​—Bik 20:35; 1Ko 3:9

  • Tulina “emirembe gya Katonda” egituyamba okusigala nga tuli banywevu ne mu biseera ebizibu.​—Baf 4:6, 7

  • Tulina omuntu ow’omunda omuyonjo.​—2Ti 1:3

  • Tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.​—Zb 25:14

Nnyinza ntya okulaga nti okusinza okulongoofu nkutwala nga kwa muwendo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share