LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr18 Agusito lup. 1-5
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
  • Subheadings
  • AGUSITO 6-12
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
mwbr18 Agusito lup. 1-5

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

AGUSITO 6-12

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA| LUKKA 17-18

“Kirage nti Osiima”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 17:12, 14

abasajja abagenge kkumi: Abagenge baabeeranga wamu basobole okuyambagana. (2Sk 7:3-5) Okusinziira ku Mateeka, abagenge baalinanga kubeera bokka. Omugenge era yalinanga okulabula abalala ng’ayogerera waggulu nti: “Siri mulongoofu, siri mulongoofu!” (Lev 13:45, 46) Abagenge ekkumi nabo baagondera Amateeka ne bayimirira walako okuva Yesu we yali.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 8:2 n’Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu, “Ebigenge; Omugenge.”

mweyanjule eri bakabona: Olw’okuba Yesu Kristo bwe yali ku nsi yali wansi w’Amateeka, yassa ekitiibwa mu nteekateeka y’obwakabona bwa Alooni obwaliwo mu kiseera ekyo, era bwe yawonya abagenge yabalagira okugenda beeyanjule eri bakabona. (Mat 8:4; Mak 1:44) Okusinziira ku Mateeka ga Musa, kabona ye yalinanga okukakasa nti omugenge awonye. Omugenge eyabanga awonye yatwalanga ku yeekaalu ekiweebwayo oba ekirabo, eky’ebinyonyi bibiri ebiramu, akatabi k’omuti gw’entolokyo, wuzi emmyufu, n’akaganda k’obuti bwa ezobu.—Lev 14:2-32.

w08 10/1 lup. 14-15 ¶8-9

Lwaki Kirungi Okwebaza?

Eky’okuba nti bali abalala tebaakomawo kwebaza, Yesu yakibuusa amaaso? Yesu yagamba nti: “Bonna ekkumi tebalongooseddwa? Kati olwo omwenda bali wa? Tewali n’omu akomyewo kugulumiza Katonda okuggyako omusajja ono ow’eggwanga eddala?”—Lukka 17:17, 18.

Abagenge bali omwenda tebaali bantu babi. Emabegako baali bakyolese bulungi nti bakkiririza mu Yesu, era baakola nga bwe yalagira ne bagenda e Yerusaalemi beeyanjule eri bakabona. Wadde ng’abasajja abo baasiima nnyo Yesu kye yabakolera, tebaakomawo kumwebaza. Ekyo Yesu tekyamusanyusa. Ate ffe? Omuntu bw’atukolera ekintu ekirungi tujjukira okumwebaza, oboolyawo ne tumuwandiikira akabaluwa akalaga nti tusiimye?

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 17:10

abatalina mugaso: Wano Yesu yali tategeeza nti abaddu, nga bano be bayigirizwa be, basaanidde okwetwala ng’abatalina mugaso. Okusinziira ku nnyiriri eziriraanyeewo, ebigambo “abatalina mugaso,” bitegeeza nti abaddu bandibadde beetoowaze nga tebakitwala nti basaanidde okutenderezebwa oba okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo. Abeekenneenya abamu bagamba nti ebigambo bya Yesu ebyo biyinza okutegeeza nti, “tuli baddu buddu abatasaana kuyisibwa mu ngeri ya njawulo.”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 18:8

okukkiriza okw’engeri eno: Oba, “okukkiriza kuno.” Obut., “okukkiriza.” Okukozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okw’engeri eno,” kiraga nti Yesu yali tayogera bwogezi ku kukkiriza, wabula yali ayogera ku kukkiriza okw’enjawulo ng’okwo nnamwandu gw’ayogerako mu lugero luno kwe yayoleka. (Luk 18:1-8) Kuzingiramu okukkiriza nti Katonda addamu okusaba kwaffe, era nti ajja kusobozesa abalonde be okulagibwa obwenkanya. Kirabika Yesu teyaddamu kibuuzo kye yabuuza ekikwata ku kukkiriza, olw’okuba yali ayagala abayigirizwa be beekebere balabe okukkiriza kwabwe bwe kwenkana. Olugero olukwata ku kusaba n’okukkiriza lwali lutuukirawo kubanga Yesu yali yaakabuulira abayigirizwa be okugezesebwa kwe baali bagenda okwolekagana nakwo.—Luk 17:22-37.

AGUSITO 13-19

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA| LUKKA 19-20

“Yigira ku Lugero Olukwata ku Mina Ekkumi”

jy lup. 232 ¶2-4

Olugero lwa Yesu Olukwata ku Mina Ekkumi

Agamba nti: “Waaliwo omusajja ow’omu lulyo olulangira eyagenda mu nsi ey’ewala okulya obwakabaka era oluvannyuma akomewo.” (Lukka 19:12) Olugendo ng’olwo lutwala ekiseera kiwanvu. Yesu ye ‘musajja ow’omu lulyo olulangira’ agenda mu “nsi ey’ewala,” mu ggulu, Kitaawe gy’ajja okumuweera obuyinza obw’okufuga nga Kabaka.

Mu lugero, ‘ng’omusajja ow’omu lulyo olulangira’ tannagenda, ayita abaddu kkumi buli omu n’amuwa mina emu eya ffeeza era n’abagamba nti: “Muzikozese okusuubula okutuusa lwe ndikomawo.” (Lukka 19:13) Mina eza ffeeza ssente za muwendo mungi. Mina emu yenkanankana omusaala gwa myezi egisukka mu esatu omupakasi ow’omu nnimiro gw’afuna.

Abayigirizwa bayinza okukitegeera nti balinga abaddu ekkumi aboogerwako mu lugero olwo, kubanga emabegako Yesu yabageraageranya ku bakunguzi. (Matayo 9:35-38) Naye bo si bakunguzi ba birime, wabula bakungula mu ngeri nti bayamba abantu abalala okufuuka abayigirizwa nabo basobole okufuna ekifo mu Bwakabaka bwa Katonda. Abayigirizwa bakozesa ebintu byabwe mu kuyamba abalala okufuuka abasika b’Obwakabaka.

jy lup. 232 ¶7

Olugero lwa Yesu Olukwata ku Mina Ekkumi

Singa abayigirizwa bamanya nti be boogerwako ng’abaddu era ne bakozesa ebintu byabwe okufuula abalala abayigirizwa, basobola okuba abakakafu nti ekyo kijja kusanyusa nnyo Yesu era nti ajja kubawa empeera. Kyo kituufu nti abayigirizwa ba Yesu bonna tebali mu mbeera y’emu era tebalina busobozi bwe bumu. Naye Yesu, eyafuna obuyinza obw’okufuga nga Kabaka, ajja kubawa emikisa olw’okufuba okufuula abantu abayigirizwa.—Matayo 28:19, 20.

jy lup. 233 ¶1

Olugero lwa Yesu Olukwata ku Mina Ekkumi

Olw’okuba yalemererwa okukola asobole okwongera ku by’obugagga by’obwakabaka bwa mukama we, omuddu oyo yafiirwa ne kye yalina. Abatume beesunga ekiseera Yesu lw’anaatandika okufuga mu Bwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, ebyo by’ayogera ku muddu oyo kirabika bibayamba okumanya nti bwe bataba banyiikivu tebajja kufuna kifo mu Bwakabaka obwo.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 19:43

ekigo eky’emiti emisongovu: Oba “olukomera olw’emiti.” Luno lwe lunyiriri lwokka ekigambo ky’Oluyonaani khaʹrax we kikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ekigambo ekyo kitegeeza “emiti emisongovu egikozesebwa okukola olukomera,” era kitegeeza “ebikomera amagye bye gaazimbanga nga gakozesa emiti.” Ebigambo bya Yesu byatuukirira mu mwaka gwa 70 E.E., amagye g’Abaruumi agaali gaduumirwa Titus bwe gaazimba ekikomera eky’emiti okwetoloola Yerusaalemi. Titus yalina ebigendererwa bya mirundi esatu—okulemesa Abayudaaya okutoloka, okubawaliriza okwewaayo, n’okubalumya enjala okutuusa lwe bandyewaddeyo. Okusobola okuzimba ekigo ekyo, eggye ly’Abaruumi lyatema emiti gyonna egyali mu bitundu eby’omu byalo.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 20:38

kubanga eri ye bonna balamu: Bayibuli eraga nti abantu abalamu naye nga beeyawudde ku Katonda, baba bafu mu maaso ge. (Bef 2:1; 1Ti 5:6) Ku luuyi olulala, abaweereza ba Katonda abeesigwa bwe bafa baba bakyali balamu mu maaso ge, kubanga ajja kubazuukiza.—Bar 4:16, 17.

AGUSITO 20-26

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA| LUKKA 21-22

“Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka”

kr-E lup. 226 ¶9

Obwakabaka bwa Katonda Buggyawo Abalabe Baabwo

Obubonero ku ggulu. Yesu yagamba nti: “Enjuba erijjako ekizikiza, omwezi tegulyaka, emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa.” Mu kiseera ekyo, abantu baliba tebakyesiga bakulembeze b’amadiini era nga tebakyabatwala nti balina ekitangaala. Kyandiba nti Yesu era yali ategeeza nti obubonero obwo bulirabikira ddala ku ggulu? Oboolyawo. (Is. 13:9-11; Yow. 2:1, 30, 31) Bwe kiba bwe kityo, abantu balikwatibwako batya nga balabye obubonero obwo? Bayibuli egamba nti baliba mu ‘bulumi nga tebamanyi kya kukola.’ (Luk. 21:25; Zef. 1:17) Abalabe b’Obwakabaka bwa Katonda, okuva ku ‘bakabaka okutuuka ku baddu,’ “balizirika olw’okutya n’olw’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi” era balinoonya aw’okwekweka. Kyokka bajja kubulwa aw’okwekweka okuwona obusungu bwa Kabaka waffe.—Luk. 21:26; 23:30; Kub. 6:15-17.

w16.01 lup. 10-11 ¶17

“Mweyongere Okwagalana ng’Ab’Oluganda”!

“Tubeere bagumu.” (Soma Abebbulaniya 13:6.) Okwesiga Yakuwa kituyamba okugumira ekizibu kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo. Bwe tuba abagumu kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu, tuba tusobola okulaga bakkiriza bannaffe okwagala nga tubabudaabuda era nga tubazzaamu amaanyi. (1 Bas. 5:14, 15) Ne mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene ekijja okuba ekizibu ennyo, tujja kusobola ‘okuyimirira busimba, era tujja kusobola okuyimusa emitwe gyaffe,’ nga tukimanyi nti okununulibwa kwaffe kunaatera okutuuka.—Luk. 21:25-28.

w15 7/15 lup. 17 ¶13

“Okununulibwa Kwammwe Kunaatera Okutuuka”!

Abo abanaalamulwa nti mbuzi banaakola ki nga bakitegedde nti bagenda mu “kufa okw’olubeerera”? Bayibuli egamba nti: ‘Balikuba ebiwoobe.’ (Mat. 24:30) Naye ate baganda ba Kristo ne bannaabwe abeesigwa banaakola ki? Nga balina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa Katonda awamu n’Omwana we, Yesu Kristo, bajja kukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Ebintu bino bwe biritandika okubaawo, muyimiriranga busimba, era muyimusanga emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuliba kunaatera okutuuka.” (Luk. 21:28) Mu butuufu, tujja kuba bagumu nga tuli bakakafu nti tugenda kununulibwa.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 21:33

Eggulu n’ensi biriggwaawo: Ebyawandiikibwa ebirala biraga nti eggulu n’ensi bijja kubeerawo emirembe gyonna. (Lub 9:16; Zb 104:5; Mub 1:4) N’olwekyo, ebigambo bino bisaanidde okutegeerwa ng’eby’okugereesa. Bitegeeza nti ekintu ekitasoboka ne bwe kibaawo, gamba ng’eggulu n’ensi okuggwaawo, ebigambo bya Yesu birina okutuukirira. (Geraageranya ne Mat 5:18.) Kyokka eggulu n’ensi ebyogerwako mu lunyiriri luno biyinza okuba nga ly’eggulu n’ensi eby’akabonero, ebyogerwako ‘ng’eggulu eryasooka n’ensi eyasooka’ mu Kub 21:1.

ebigambo byange tebiriggwaawo: Oba “ebigambo byange tebiyinza kuggwaawo.” Ebigambo by’Oluyonaani ebyakozesebwa wano biwa amakulu g’ekintu ekitasobokera ddala; kiraga nti ebigambo bya Yesu birina okutuukirira.

w14 10/15 lup. 16-17 ¶15-16

Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’

Oluvannyuma lw’okutandikawo omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama waffe, Yesu yakola endagaano n’abayigirizwa be abeesigwa, ng’eno ye ndagaano ey’Obwakabaka. (Soma Lukka 22:28-30.) Obutafaananako endagaano endala ze tulabye, ezaali wakati wa Yakuwa n’abalala, endagaano eno yo eri wakati wa Yesu n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta. Yesu bwe yagamba nti, “nga Kitange bwe yakola nange endagaano,” ayinza okuba nga yali ayogera ku ndagaano Yakuwa gye yakola naye okuba “kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki.”—Beb. 5:5, 6.

Abatume ba Yesu 11 abeesigwa baamunywererako ng’agezesebwa. Endagaano y’Obwakabaka yabakakasa nti bandibadde ne Yesu mu ggulu era nti banditudde ku ntebe z’obwakabaka ne bafuga nga bakabaka era ne baweereza nga bakabona. Kyokka abatume ba Yesu 11 si be bokka abandifunye enkizo eyo. Mu kwolesebwa, Yesu yagamba omutume Yokaana nti: “Oyo awangula ndimukkiriza okutuula nange ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nnawangula ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey’obwakabaka.” (Kub. 3:21) N’olwekyo, endagaano y’Obwakabaka eri wakati wa Yesu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000. (Kub. 5:9, 10; 7:4) Eno ye ndagaano ekakasa nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu. Kino kiyinza okugeraageranyizibwa ku mukazi afumbirwa kabaka, era oluvannyuma omukazi oyo n’aba ng’asobola okufugira awamu ne kabaka. Mu butuufu, ebyawandiikibwa byogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta ‘ng’omugole’ wa Kristo, era biraga nti “balongoofu ng’omuwala embeerera” asuubiziddwa okufumbirwa Kristo.—Kub. 19:7, 8; 21:9; 2 Kol. 11:2.

AGUSITO 27–SSEBUTEMBA 2

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA| LUKKA 23-24

“Beera Mwetegefu Okusonyiwa Abalala”

cl lup. 297 ¶16

“Okutegeera Okwagala kwa Kristo”

Yesu yayoleka bulungi okwagala kwa Kitaawe mu ngeri endala enkulu—yali ‘mwetegefu okusonyiwa.’ (Zabbuli 86:5) Kino kyeyoleka bwe yali ku muti gwe yakomererwako. Bwe yali ku muti ogwo mu bulumi obw’amaanyi ennyo, yayogera ku ki? Yasaba Yakuwa okubonereza abaamukomerera? Teyakola bw’atyo, wabula yagamba: “Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola.”—Lukka 23:34.

g-E 2/08 lup. 11 ¶5-6

Katonda Asonyiwa Omuntu Akoze Ekibi eky’Amaanyi?

Yakuwa tatunuulira kibi kyokka omuntu ky’aba akoze, wabula afaayo ne ku kiri mu mutima gwe. (Isaaya 1:16-19) Lowooza ku bamenyi b’amateeka ababiri abaakomererwa okumpi ne Yesu. Bombi baali bakoze ebibi eby’amaanyi, kubanga omu ku bo yagamba nti: “Ffe ekibonerezo ekituweereddwa kitugwanira kubanga tufunye ekyo ekigwana bye twakola; naye omusajja ono [Yesu] talina kye yakola.” Ebigambo omusajja oyo bye yayogera biraga nti yali alina ky’amanyi ku Yesu. Era bye yali amumanyiiko kirabika bye byamuleetera okukyusa endowooza ye. Ekyo kirabikira mu bigambo bye yaddako okwogera bwe yagamba Yesu nti: “Onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.” Yesu yatwala atya ebigambo by’omusajja oyo ebyaviira ddala ku mutima? Yamugamba nti: “Mazima nkugamba leero nti, oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”—Lukka 23:41-43.

Kirowoozeeko! Mu bigambo Yesu bye yasembayo okwogera ng’ali ku nsi, mwalimu ebigambo eby’ekisa bye yabuulira omusajja eyali akkirizza nti ekibonerezo eky’okufa ekyali kimuweereddwa kyali kimugwanira. Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Tusobola okuba abakakafu nti Yesu Kristo ne Kitaawe Yakuwa, bajja kukwatirwa ekisa abo bonna ebeenenya mu bwesimbu, ka babe nga baakola ebibi eby’amaanyi.—Abaruumi 4:7.

cl lup. 297-298 ¶17-18

“Okutegeera Okwagala kwa Kristo”

Oboolyawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ekyoleka engeri Yesu gy’asonyiwamu kirabibwa mu ngeri gye yayisaamu omutume Peetero. Awatali kubuusabuusa Peetero yali ayagala nnyo Yesu. Nga Nisaani 14, ekiro ekyasembayo Yesu alyoke attibwe, Peetero yamugamba: “Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe mu kkomera ne mu kufa.” Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Peetero yali amaze okwegaana Yesu emirundi esatu! Baibuli etutegeeza ekyaliwo Peetero bwe yeegaana Yesu omulundi ogw’okusatu: “Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero.” Olw’ekibi ekyo eky’amaanyi kye yakola, Peetero ‘yafuluma ebweru n’akaaba nnyo amaziga.’ Yesu bwe yamala okufa, omutume oyo ayinza okuba yeebuuza, ‘Mukama wange yansonyiwa?’—Lukka 22:33, 61, 62.

Peetero teyalinda kiseera kiwanvu okufuna eky’okuddamu. Yesu yazuukizibwa nga Nisaani 16, era ku lunaku olwo, Yesu kennyini yakyalira Peetero. (Lukka 24:34; 1 Abakkolinso 15:4-8) Lwaki Yesu yafaayo nnyo ku mutume eyamwegaana ne ssekwegaana yenna? Yesu ayinza okuba nga yali ayagala okukakasa Peetero eyali yeenenyezza nti yali akyamwagala era ng’amutwala nga wa muwendo. Kyokka, Yesu yakola ekisingawo ku kukakasa obukakasa Peetero nti akyamwagala.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Luk 23:31

ng’omuti mubisi, . . . nga gukaze: Kirabika Yesu yali ayogera ku Bayudaaya ng’eggwanga. Eggwanga eryo lyali ng’omuti ogwali gunaatera okukala naye nga gukyali mubisibisi, kubanga Yesu yali akyaliwo era n’Abayudaaya abaali bamukkiririzaamu baali bakyaliwo. Kyokka Yesu yali anaatera okuttibwa, era Abayudaaya abeesigwa baali banaatera okufukibwako omwoyo omutukuvu bafuuke Isirayiri ow’omwoyo. (Bar 2:28, 29; Bag 6:16) Oluvannyuma lw’ekyo, eggwanga lya Isirayiri lyandifudde mu by’omwoyo ne liba ng’omuti omukalu.—Mat 21:43.

nwtsty ekifaananyi

Omusumaali mu Ggumba ly’Ekisinziiro

Ekifaananyi kino kiraga ng’omusumaali ogwa inci 4 n’ekitundu gufumitiddwa mu ggumba ly’ekisinziiro ky’omuntu. Mu 1968, abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula ekibumbe ng’ekyo ekiragiddwa mu kifaananyi kino mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi, era nga kyakolebwa mu biseera by’Abaruumi. Ekyo kiwa obukakafu nti ddala emisumaali gyakozesebwanga okukomerera omuntu ku muti. Omusumaali guno guyinza okuba nga gufaanana n’egyo abasirikale Abaruumi gye baakozesa okukomerera Yesu ku muti. Ekibumbe ekyo kyasangibwa mu ssanduuko eyakolebwa mu mayinja, era mu ssanduuko eyo mwalimu n’amagumba g’omuntu agaatekebwamu ng’omubiri gwe gumaze okuvunda. Ekyo kiraga nti n’abantu abaabanga bakomereddwa ku muti oluusi baaziikibwanga.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share