LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr18 Okitobba lup. 1-7
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
  • Subheadings
  • OKITOBBA 1-7
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2018
mwbr18 Okitobba lup. 1-7

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

OKITOBBA 1-7

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 9-10

“Yesu Afaayo ku Ndiga Ze”

nwtsty ekifaananyi

Ekisibo

Ekisibo ky’endiga kyabanga kiyumba mwe baakuumiranga endiga obutabbibwa oba obutaliibwa nsolo. Abasumba baakuumiranga endiga zaabwe mu biyumba ebyo mu budde obw’ekiro. Mu biseera eby’edda, ebiyumba by’endiga tebyabangako kasolya. Ate era byabanga bya sayizi za njawulo, nga byazimbisibwa mayinja, era nga biriko omulyango gumu gwokka. (Kbl 32:16; 1Sa 24:3; Zef 2:6) Yokaana yawandiika ku muntu okuyingira mu kisibo ‘ng’ayita mu mulyango’ oguliko “omukuumi.” (Yok 10:1, 3) Ebisibo ebimu byasulangamu endiga z’abantu abawerako era waabangawo omukuumi ayazikuumanga mu budde obw’ekiro. Ku makya, omukuumi yaggulirangawo abasumba oluggi. Buli musumba yayitanga endiga ze, era zaategeeranga eddoboozi lye ne zimugoberera. (Yok 10:3-5) Yesu yakozesa ekyokulabirako ekyo okulaga engeri gye yalabirirangamu abayigirizwa be.—Yok 10:7-14.

w11 5/15 lup. 7-8 ¶5

Amaka Amakristaayo—‘Musigale nga Mutunula’

Okumanya n’obwesige bintu bikulu nnyo omusumba bw’aba ow’okukolagana obulungi n’endiga ze. Omusumba aba amanyi bulungi endiga ze, era n’endiga ziba zimanyi bulungi omusumba waazo era nga zimwesiga. Ziba zimanyi bulungi eddoboozi lye era zimugondera. Yesu yagamba nti: “Mmanyi endiga zange, nazo zimmanyi.” Yesu amanyi bulungi ekibiina. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “mmanyi” kirina amakulu “ag’okutegeera obulungi ekintu.” Yee, Omusumba Omulungi ategeera bulungi buli emu ku ndiga ze. Amanyi ebyetaago bya buli ndiga, obunafu bwayo, n’ebyo by’esobola okukola. Omusumba waffe amanyi kalonda yenna akwata ku ndiga ze. Era n’endiga zimanyi bulungi omusumba waazo era zikkiriza obukulembeze bwe.

cf-E lup. 124-125 ¶17

“Teyayogeranga Nabo nga Takozesezza Ngero”

Mu kitabo kye ekiyitibwa The Historical Geography of the Holy Land, George A. Smith yawandiika ku ekyo kye yeerabirako n’amaaso ge. Yawandiika nti: “Oluusi mu budde obw’omu ttuntu twagendanga okuwummulirako ku lumu ku nzizi z’omu Buyudaaya, era abasumba basatu oba bana baaleetanga endiga zaabwe okunywa amazzi. Endiga zegattanga wamu era twebuuzanga engeri buli musumba gye yandyawuddemu ezize. Naye bwe zaamalanga okunywa amazzi n’okuzanyamu, abasumba baagendanga ku njuyi ez’enjawulo buli omu n’ayita endiga ze. Buli ndiga yagendanga eri omusumba waayo, era ne zimugoberera mu ngeri entegeke obulungi nga bwe zazze.” Yesu yakozesa ekyokulabirako ekyo ekituukirawo okutuyigiriza nti bwe tutegeera eddoboozi lye ne tukolera ku ebyo by’atuyigiriza era ne tumugoberera, tuba tukulemberwa ‘omusumba omulungi.’

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 10:16

okuzireeta: Oba “okuzikulembera.” Ekigamba ky’Oluyonaani aʹgo ekyakozesebwa wano kiyinza okutegeeza “okuleeta” oba “okukulembera,” okusinziira ku kiba kyogerwako. Ekiwandiiko ekimu eky’Oluyonaani ekyaliwo okuva awo nga mu mwaka gwa 200 E.E. kikozesa ekigamba ky’Oluyonaani (sy·naʹgo) ekikifaanana era nga kitera okuvvuunulwa nti “okukuŋŋaanya.” Yesu Omusumba Omulungi, akuŋŋaanya, akulembera, akuuma, era aliisa endiga eziri mu kisibo kye (era eziyitibwa “ekisibo ekitono” mu Luk 12:32) era n’endiga endala. Endiga ezo zonna ziri ekisibo kimu wansi w’omusumba omu. Ekyo kiraga nti abagoberezi ba Yesu bandibadde bumu.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 9:38

n’amuvunnamira: Oba “ne yeeyala mu maaso ge.” Ekigambo ky’Oluyonaani pro·sky·neʹo bwe kikozesebwa okutegeeza okusinza katonda oba ekintu ekirala kyonna, kivvuunulwa nti “okusinza.” (Mat 4:10; Luk 4:8) Kyokka mu lunyiriri luno, omusajja eyazibulwa amaaso yavunnamira Yesu olw’okuba yakitwala nti Yesu yali akiikiridde Katonda. Teyakitwala nti Yesu ye Katonda wabula yamutwala ‘ng’Omwana w’omuntu’ oba Masiya Katonda gwe yawa obuyinza. (Yok 9:35) Omusajja oyo bwe yavunnamira Yesu, yakikola mu ngeri y’emu ng’abantu aboogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bwe baakikolanga. Baavunnamiranga bannabbi, bakabaka, n’abantu abalala abaabanga batumiddwa Katonda. (1Sa 25:23, 24; 2Sa 14:4-7; 1Sk 1:16; 2Sk 4:36, 37) Emirundi mingi, abantu abaavunnamiranga Yesu baabanga basiima Katonda olw’ekyo kye yabanga abakoledde okuyitira mu Yesu.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 2:2; 8:2; 14:33; 15:25.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 10:22

Embaga ey’Okuzza Obuggya: Mu Lwebbulaniya embaga eno eyitibwa Kanukka (chanuk·kahʹ), ekitegeeza “Okuwaayo.” Embaga eno yamalanga ennaku munaana okuva nga 25 omwezi gwa Kisulevu okutuuka ng’ekiseera ky’obutiti kinaatera okutandika, (laba awannyonnyolerwa ebigambo, kiseera kya butiti ebiri mu lunyiriri luno, n’Ebyong. B15) era yakwatibwanga okujjukira olunaku lwe baddamu okuwaayo yeekaalu mu mwaka gwa 165 E.E.T. Kabaka wa Busuuli eyali ayitibwa Antiochus Epiphanes IV yatyoboola yeekaalu ya Yakuwa Katonda w’Abayudaaya. Ng’ekyokulabirako, yazimba ekyoto ekirala waggulu ku kyoto kya yeekaalu kwe baaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku. Mu mwezi gwa Kisulevu nga 25, mu mwaka gwa 168 E.E.T., Antiochus yakola ebintu ebirala ebyoleka obunyoomi. Yasaddaakira embizzi ku kyoto kya yeekaalu, n’amansira ssupu w’embizzi mu yeekaalu yonna. Yayokya enzigi za yeekaalu, n’amenya ebisenge bya bakabona, era n’atwala ekyoto ekya zzaabu, emmeeza ey’emigaati egy’okulaga, n’ekikondo ky’etaala ekya zzaabu. Oluvannyuma yawaayo yeekaalu ya Yakuwa eri katonda ow’obulimba ayitibwa Zewu ow’e Olympus. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, Judas Maccabaeus yaddamu okuwamba ekibuga Yerusaalemi ne yeekaalu. Yeekaalu bwe yamala okulongoosebwa, yaddamu okuweebwayo eri Yakuwa mu mwezi gwa Kisulevu nga 25, mu 165 E.E.T., nga wayiseewo emyaka esatu oluvannyuma lwa Antiochus okugityoboola n’okugiwaayo eri Zewu. Oluvannyuma baddamu okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku. Tewali kyawandiikibwa kiraga nti Yakuwa ye yasobozesa Judas Maccabaeus okuwamba Yerusaalemi era n’amulagira okulongoosa yeekaalu. Kyokka mu biseera eby’edda, Yakuwa yakozesa abantu ab’amawanga amalala, gamba nga kabaka Kuulo owa Buperusi, okukola ebintu ebiwagira okusinza okw’amazima. (Is 45:1) N’olw’ekyo, Yakuwa asobola okukozesa omuntu yenna okutuukiriza ekigendererwa kye. Ebyawandiikibwa biraga nti obunnabbi obukwata ku Masiya, obuweereza bwe, ne ssaddaaka ye okusobola okutuukirira, yeekaalu yalina okubaawo era nga n’emirimu gyamu gikolebwa. Ate era, bakabona Abaleevi baalina okuwaangayo ssaddaaka mu yeekaalu okutuusa Masiya lwe yandiwaddeyo obulamu bwe nga ssaddaaka esingayo ku lw’abantu. (Dan 9:27; Yok 2:17; Beb 9:11-14) Abagoberezi ba Kristo tebaalagirwa kukwatanga Mbaga ey’Okuzza Obuggya. (Bak 2:16, 17) Kyokka, tewali kiraga nti Yesu oba abayigirizwa be baavumirira eky’okukwata embaga eyo.

OKITOBBA 8-14

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 11-12

“Beera Musaasizi nga Yesu”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:24, 25

Mmanyi nti alizuukira: Maliza yali alowooza nti Yesu yali ayogera ku kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 6:39.) Okukkiriza kwe yalina mu njigiriza eyo kwali kwa maanyi nnyo. Abamu ku bakulembeze b’eddiini abaali bayitibwa Abasaddukaayo, baali tebakkiriza nti eriyo okuzuukira wadde ng’enjigiriza eyo erambikiddwa bulungi mu byawandiikibwa. (Dan 12:13; Mak 12:18) Ku luuyi olulala, Abafalisaayo bo baali bakkiriza nti omuntu alina omwoyo ogutafa. Kyokka Maliza ye yali akimanyi nti Yesu yayigiriza ku kuzuukira era waaliwo n’abantu be yazuukiza, wadde nga tewali n’omu ku bo eyali amaze ennaku nga Laazaalo ze yali amaze ng’afudde.

Nze kuzuukira n’obulamu: Okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe byaggulirawo abantu ekkubo ery’okuzuukira. Yesu bwe yamala okuzuukira, Yakuwa teyakoma ku kumuwa maanyi ga kuzuukiza bafu, naye era yamuwa n’obuyinza obw’okuwa abantu obulamu obutaggwaawo. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 5:26.) Mu Kub 1:18, Yesu agamba nti “mulamu,” era nti alina “ebisumuluzo by’okufa n’eby’amagombe.” N’olw’ekyo, essuubi ly’abalamu n’abafu liri mu Yesu. Yasuubiza okuzuukiza abafu abawe obulamu. Abamu bajja kufugira wamu naye mu ggulu, ate abalala bajja kubeera mu nsi empya efugibwa Obwakabaka bwe emirembe gyonna.—Yok 5:28, 29; 2Pe 3:13.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:33-35

ng’akaaba: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okukaaba’ okusinga kitegeeza okukaaba mu ddoboozi eriwulikika. Ekigambo kye kimu kikozesebwa ku Yesu bwe yali ayogera ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi.—Luk 19:41.

n’asinda . . . era n’anyolwa nnyo: Ebigambo ebibiri ebikozesebwa wano binnyonnyola enneewulira ey’amaanyi ennyo Yesu gye yayoleka ku olwo. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “n’asinda” (em·bri·maʹo·mai) okutwalira awamu kitegeeza enneewulira ey’amaanyi ennyo, naye mu lunyiriri luno kiraga engeri Yesu gye yakwatibwako ennyo n’atuuka n’okusinda. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “n’anyolwa nnyo” (ta·rasʹso) obutereevu kitegeeza obutatereera. Okusinziira ku mwekenneenya omu, mu lunyiriri luno ekigambo ekyo kitegeeza “omuntu okuwulira nga tateredde; okuwulira ennaku oba obulumi obw’amaanyi mu mutima gwe.” Ekigambo kye kimu eky’Oluyonaani kikozesebwa ne mu Yok 13:21 okunnyonnyola engeri Yesu gye yawuliramu bwe yalowooza ku ky’okuba nti Yuda yali agenda kumulyamu olukwe.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:35.

mu nda ye: Obut., “mu mwoyo.” Ekigambo ky’Oluyonaani pneuʹma ekyakozesebwa wano kirabika kitegeeza enneewulira esibukira ddala mu mutima gw’omuntu ogw’akabonero, emuleetera okwogera oba okukola ekintu mu ngeri emu oba endala.

n’akulukusa amaziga: Ekigambo ekikozesebwa wano (da·kryʹo) kiva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “amaziga” era kikozesebwa ne mu Luk 7:38; Bik 20:19, 31; Beb 5:7; Kub 7:17; 21:4. Ekigambo ekyo bwe kikozesebwa, essira liba liteekeddwa ku maziga agakulukuta so si ku ddoboozi eriwulikika ng’omuntu akaaba. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo ekyo kikozesebwa mu lunyiriri luno lwokka, era kya njawulo ku ekyo ekikozesebwa mu Yok 11:33 (laba awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:33) ekinnyonnyola okukaaba kwa Maliyamu n’Abayudaaya. Wadde nga Yesu yali akimanyi nti yali agenda kuzuukiza Laazaalo, yanakuwala nnyo bwe yalaba nga mikwano gye bakaaba. Okwagala n’obusaasizi bye yalina eri mikwano gye byamuleetera okukulukusa amaziga mu lujjudde. Ekyo kiraga nti Yesu alumirirwa nnyo abo abafiirwa abantu baabwe, olw’okufa kwe twasikira okuva ku Adamu.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:49

kabona asinga obukulu: Abayisirayiri bwe baabanga tebafugibwa ggwanga ddala, kabona asinga obukulu yabeeranga mu kifo ekyo obulamu bwe bwonna. (Kbl 35:25) Kyokka mu kiseera ky’obufuzi bw’Abaruumi, omufuzi eyassibwangawo okufuga ekitundu kya Buyudaaya yalina obuyinza okulonda kabona asinga obukulu n’okumuggyako. (Laba Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu, “Kabona asinga obukulu.”) Kayaafa, Abaruumi gwe baalonda yalina obumanyirivu bungi era yamala mu kifo ekyo ekiseera kiwanvu okusinga bakabona be yaddira mu bigere. Yalondebwa awo nga mu mwaka gwa 18 E.E., n’abeera mu kifo ekyo okutuukira ddala awo nga mu mwaka gwa 36 E.E. Yokaana okuwandiika nti Kayaafa yali kabona asinga obukulu omwaka ogwo, kwe kugamba mu mwaka gwa 33 E.E., kiraga nti Kayaafa ayinza okuba nga ye yali kabona asinga obukulu ne mu mwaka ogwo mwe battira Yesu.—Laba Ebyong. B12 awalaga ennyumba ya Kayaafa w’eyinza okuba nga we yali.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 12:42

bafuzi: Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘abafuzi’ kirabika kitegeeza abasajja abaali mu lukiiko olukulu olw’Abayudaaya. Ekigambo ekyo kikozesebwa ne mu Yok 3:1 ku Nikodemu, naye eyali mu lukiiko olwo.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 3:1.

okugobebwa mu kkuŋŋaaniro: Oba “okuwerebwa okugenda mu kkuŋŋaaniro.” Ekigambo ky’Oluyonaani a·po·sy·naʹgo·gos kikozesebwa mu lunyiriri luno ne mu Yok 16:2 mwokka. Omuntu bwe yagobebwanga mu kkuŋŋaaniro, baamweyawulangako era ne balekera awo okukolagananga naye. Omuntu okwawulibwa bw’atyo ku Bayudaaya banne kyali kisobola okukosa ab’omu maka ge mu by’enfuna. Amakuŋŋaaniro okusingira ddala gaakozesebwanga mu kusinza n’okuyigiriza, naye era gaakozesebwanga nga kkooti mu bitundu mwe gaabeeranga. Kkooti ezo zaabanga n’obuyinza okusalira omuntu ekibonerezo eky’okukubibwa embooko oba okugobebwa mu kkuŋŋaaniro.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 10:17.

OKITOBBA 15-21

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 13-14

“Mbateereddewo Ekyokulabirako”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 13:5

okunaaza abayigirizwa be ebigere: Mu biseera eby’edda mu Isirayiri, abantu baasinganga kwambala ngatto ezittabikka bigere. Omuntu bwe yayambalanga engatto ezo, ebigere bye byagendangako enfuufu oba ebisooto. N’olw’ekyo, yali mpisa omuntu okuggyamu engatto nga tannayingira mu nnyumba era nnannyini nnyumba yakakasanga nti ebigere by’omugenyi we binaazibwa. Waliwo ennyiriri eziwerako ezoogera ku mpisa eyo. (Lub 18:4, 5; 24:32; 1Sa 25:41; Luk 7:37, 38, 44) Yesu bwe yanaaza ebigere by’abayigirizwa be, yali abayigiriza okuba abeetoowaze n’okuweereza abalala.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 13:12-14

mugwanidde: Oba “kibakakatako.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyakozesebwa wano kitera kukozesebwa mu by’enfuna, nga kitegeeza “okubanjibwa; okubeera n’ebbanja eri omuntu omulala.” (Mat 18:28, 30, 34; Luk 16:5, 7) Mu lunyiriri luno ne mu byawandiikibwa ebirala, kikozesebwa mu ngeri engaziko nga kitegeeza okuba nti omuntu kimukakatako okubaako ekintu ky’akola.—1Yo 3:16; 4:11; 3Yo 8.

w99-E 3/1 lup. 31 ¶1

Omusajja Asinga Bonna Akola Ekintu Ekyoleka Obwetoowaze

Yesu bwe yanaaza ebigere by’abatume be, yabayigiriza ekintu ekikulu ennyo ekikwata ku bwetoowaze. Abakristaayo tebasaanidde kulowooza nti basinga abalala oba okwenoonyeza ebitiibwa n’ettutumu. Basaanidde okukoppa Yesu ‘atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28) Abagoberezi ba Yesu balina okuba abeetegefu okukola ebintu ebitwalibwa ng’ebya wansi n’okuweereza abalala.  

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 14:6

Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu: Yesu lye kkubo kubanga ye yekka gwe tusobola okuyitiramu nga tusaba Katonda. Ate era lye “kkubo” mu ngeri nti y’atabaganya abantu ne Katonda. (Yok 16:23; Bar 5:8) Yesu ge mazima mu ngeri nti yayogera amazima era engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe yali etuukagana n’amazima ago. Ate era yatuukiriza obunnabbi obuwerako obulaga ekifo ekikulu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. (Yok 1:14; Kub 19:10) Obunnabbi obwo bwafuuka “‘yee’ [oba bwatuukirizibwa] okuyitira mu ye.” (2Ko 1:20) Yesu bwe bulamu kubanga okuyitira mu kinunulo, yasobozesa abantu okufuna “obulamu obwa nnamaddala” nga bwe ‘bulamu obutaggwaawo.’ (1Ti 6:12, 19; Bef 1:7; 1Yo 1:7) Ate era ajja kufuuka ‘bulamu’ eri abantu bukadde na bukadde abajja okuzuukizibwa babeere ku nsi emirembe gyonna.—Yok 5:28, 29.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 14:12

ebisinga na bino: Yesu tategeeza nti ebyamagero abayigirizwa be bye bandikoze byandisinze ebyamagero bye yakola. Wabula mu ngeri ey’obuwoombeefu, alaga nti abayigirizwa be bandikoze omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza ku kigero ekisinga ekikye. Abagoberezi be bandituuse mu bitundu bingi, bandibuulidde abantu bangi, era bandibuulidde okumala ekiseera kiwanvu okumusinga. Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti yali asuubira abagoberezi be okweyongera okukola omulimu gwe yatandika. 

OKITIBBA 22-28

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 15-17

“Temuli ba Nsi”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 15:19

ensi: Mu lunyiriri luno ekigambo koʹsmos eky’Oluyonaani kitegeeza abantu b’ensi abatali baweereza ba Katonda, kwe kugamba, abantu ababi abeeyawudde ku Katonda. Yokaana ye muwandiisi w’Enjiri yekka eyawandiika ebigambo Yesu bye yayogera nti temuli ba nsi. Yesu yaddamu okwogera ebigambo ebyo emirundi ebiri mu ssaala ye eyasembayo ng’ali wamu n’abatume be abeesigwa.—Yok 17:14, 16.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 15:21

olw’erinnya lyange: Mu Bayibuli, ekigambo “erinnya” oluusi kitegeeza omuntu ayitibwa erinnya eryo, ebimumanyiddwako, n’ebyo byonna by’akiikirira. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 6:9.) Bwe kituuka ku linnya lya Yesu, era likiikirira obuyinza n’ekifo Kitaawe bye yamuwa. (Mat 28:18; Baf 2:9, 10; Beb 1:3, 4) Wano Yesu annyonnyola nti abantu b’ensi bandikyaye abaweereza be kubanga tebamanyi Oyo eyamutuma. Okumanya Katonda kyandibayambye okutegeera n’okukkiriza ekyo erinnya lya Yesu kye likiikirira. (Bik 4:12) Kino kizingiramu ekifo Yesu ky’alina nga Katonda gwe yalonda okuba Omufuzi, era Kabaka wa bakabaka, abantu bonna gwe balina okugondera okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yok 17:3; Kub 19:11-16; geraageranya Zb 2:7-12.

it-1-E lup. 516

Obuvumu

Omukristaayo yeetaaga obuvumu okusobola okusigala nga tayonooneddwa ndowooza y’abantu b’ensi abeeyawudde ku Katonda wadde ng’ensi eyinza okumukyawa. Yesu Kristo yagamba abayigirizwa be nti: “Mujja kuba n’ennaku mu nsi, naye mugume! Nze mpangudde ensi.” (Yok 16:33) Omwana wa Katonda yawangula ensi mu ngeri nti teyakkiriza kutwalirizibwa ndowooza yaayo. Ekyokulabirako Yesu Kristo kye yassaawo kisobola okuyamba omuntu okuba omuvumu n’asigala nga yeeyawudde ku nsi.—Yok 17:16.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 17:21-23

omu: Oba “bumu.” Yesu yasabira abagoberezi be basobole okubeera “omu,” kwe kugamba nga bakolera wamu era nga balina ekigendererwa kimu, nga ye ne Kitaawe bwe bali “omu,” ekiraga nti bakolera wamu era bali bumu mu ndowooza. (Yok 17:22) Mu 1Ko 3:6-9, Pawulo annyonnyola nti obumu obw’engeri eyo busobola obubaawo mu Bakristaayo singa buli omu akolera wamu ne munne, era nga bonna bakolera wamu ne Katonda.—Laba 1Ko 3:8 n’awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 10:30; 17:11.

basobole okubeerera ddala obumu: Mu lunyiriri luno Yesu alaga nti obumu obwa nnamaddala bulina akakwate n’okwagalibwa Kitaawe. Kino kikwatagana n’ebiri mu Bak 3:14, awagamba nti: “okwagala . . . kwe kunywereza ddala obumu.” Abagoberezi ba Yesu okubeerera ddala obumu tekitegeeza nti tewabaawo bintu bye batafaanaganya gamba ng’engeri zaabwe, obusobozi bwabwe, empisa zaabwe, n’omuntu ow’omunda. Wabula kitegeeza nti abagoberezi ba Yesu bali bumu mu bye bakola, mu nzikkiriza, ne bye bayigiriza.—Bar 15:5, 6; 1Ko 1:10; Bef 4:3; Baf 1:27.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 17:24

ng’ensi tennatandika: Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘tennatandika’ kirina akakwate n’ekigambo ekyavvuunulwa ‘okufuna olubuto’ ekiri mu Beb 11:11. Wano ebigambo “ng’ensi tennatandika” kirabika bitegeeza nga Adamu ne Kaawa tebannazaala baana. Yesu akwataganya ‘entandikwa y’ensi’ ne Abbeeri, nga kirabika ono ye muntu eyasooka okuba ng’agwanira okununulibwa okuva mu kibi, era kirabika ye yasooka ‘okuwandiikibwa mu muzingo ogw’obulamu okuva ku ntandikwa y’ensi.’ (Luk 11:50, 51; Kub 17:8) Ebigambo bino Yesu bye yayogera ng’asaba nabyo byongera okukakasa nti edda ennyo, nga Adamu ne Kaawa tebannazaala baana, Katonda yali ayagala nnyo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.

OKITOBBA 29–NOOVEMBA 4

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 18-19

“Yesu Yawa Obujulirwa ku Mazima”

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 18:37

okuwa obujulirwa ku: Nga bwe bikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ebigambo by’Oluyonaani ebivvuunulwa “okuwa obujulirwa” (mar·ty·reʹo) ne “obujulirwa” (mar·ty·riʹa; marʹtys) birina amakulu magazi. Ebigambo ebyo bikozesebwa okutegeeza omuntu okwogera ku kintu kye yalaba nga kikolebwa oba ky’amanyi, naye era biyinza n’okutegeeza “okubuulira; okukakasa; okwogera obulungi ku.” Yesu teyakoma ku kuwa bujulirwa n’okubuulira abalala amazima ge yali akakasa nti matuufu, naye era yakyoleka ne mu bulamu bwe nti amanyi amazima agakwata ku Kitaawe ne bye yasuubiza. (2Ko 1:20) Ekigendererwa kya Katonda ekikwataganyizibwa n’Obwakabaka n’Omufuzi waabwo kyali kyalagulwako mu bujjuvu. Engeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe ng’ali ku nsi, okutuukira ddala okufa, yatuukiriza obunnabbi bwonna obwali bumukwatako nga mw’otwalidde n’ebyo ebyali mu Ndagaano y’Amateeka. (Bak 2:16, 17; Beb 10:1) N’olw’ekyo, tuyinza okugamba nti mu bigambo ne mu bikolwa, Yesu ‘yawa obujulirwa ku mazima.’

amazima: Yesu yali tayogera ku mazima okutwalira awamu, wabula yali ayogera ku mazima agakwata ku bigendererwa bya Katonda. Ekintu ekikulu ennyo mu kigendererwa kya Katonda kye ky’okuba nti Yesu “omwana wa Dawudi” aweereza nga Kabona Asinga Obukulu, era nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Mat 1:1) Yesu yagamba nti ekintu ekikulu ekyamuleeta ku nsi kwe kubuulira amazima agakwata ku Bwakabaka obwo. Bamalayika baalangirira obubaka bwe bumu nga Yesu anaatera okuzaalibwa era ne ku lunaku lwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, Dawudi gye yazaalibwa.—Luk 1:32, 33; 2:10-14.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 18:38a

Amazima kye ki?: Kirabika Piraato yali ategeeza amazima okutwalira wamu so si “amazima” Yesu ge yali yaakoogerako. (Yok 18:37) Singa ekibuuzo ekyo yakibuuza mu bwesimbu, Yesu yandibadde yakiddamu. Naye Piraato alabika yabuuza ekibuuzo ekyo mu ngeri ey’okujerega, ng’alinga agamba nti, “Amazima? Kye ki? Amazima tegaliiyo!” Mu butuufu Piraato teyalinda na kulinda Yesu kumuddamu kibuuzo kye, wabula yafuluma n’agenda eri Abayudaaya.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w10 8/15 lup. 11 kat. 15

Engeri Yesu gy’Ayoleka Obutuukirivu bwa Katonda

Bwe yali ku muti ogw’okubonaabona ng’anaatera okufa, Yesu yagamba nti: “Kiwedde!” (Yok. 19:30) Waliwo ebintu bingi Katonda bye yasobozesa Yesu okutuukiriza mu myaka esatu n’ekitundu gye yamala mu buweereza bwe ku nsi okuva lwe yabatizibwa okutuusa lwe yattibwa.Yesu bwe yafa, ensi yakkankana era ebyaliwo byaleetera omukulu w’ekibinja ky’abasirikale Abaruumi okugamba nti: “Mazima ddala ono abadde Mwana wa Katonda.” (Mat. 27:54) Kirabika omusirikale oyo yali alabye abantu nga basekerera Yesu olw’okugamba nti yali Mwana wa Katonda.Wadde nga yabonyaabonyezebwa nnyo,Yesu yakuuma obugolokofu bwe bw’atyo n’akiraga nti Sitaani mulimba nnyo. Ng’ayogera ku baweereza ba Katonda abeesigwa, Sitaani yagamba nti: “Omuntu ajja kuwaayo byonna by’alina okuwonya obulamu bwe.” (Yob. 2:4, Complete Jewish Bible) Mu kukuuma obwesigwa bwe, Yesu yakiraga nti Adamu ne Kaawa nabo bandisobodde okusigala nga beesigwa mu kugezesebwa kwabwe okutaali kwa maanyi. N’ekisinga byonna, obulamu bwa Yesu era n’okufa kwe byalaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga era nti obufuzi Bwe bwa butuukirivu. (Soma Engero 27:11.) Okufa kwa Yesu kulina ekintu ekirala kye kwatuukiriza? Yee!

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 19:31

olunaku lwa Ssabbiiti eyo lwali lukulu: Nisaani 15, olunaku olwaddiriranga Embaga ey’Okuyitako lwabanga ssabbiiti, ka lube nga lwabanga lutuuse ku lunaku ki mu wiiki. (Lev 23:5-7) Ssabbiiti eyo ey’enjawulo bwe yabangawo ku lunaku lwe lumu ne Ssabbiiti eya bulijjo (olunaku olw’omusanvu ku kalenda y’Abayudaaya, olutandika ku Lwokutaano ng’enjuba emaze okugwa okutuuka ku Lwomukaaga ng’enjuba emaze okugwa), yayitibwanga Ssabbiiti ‘enkulu.’ Ssabbiiti ng’eyo ye yaliwo ku lunaku olwaddirirwa olunaku Yesu kwe yafiira. Yesu yafa Lwakutaano. Okuva mu mwaka gwa 29 okutuuka 35 E.E., omwaka 33 E.E gwe mwaka gwokka olunaku lwa Nisaani 14 lwe lwabaawo ku Lwokutaano. N’olw’ekyo, kino kikakasa nti Yesu yafa nga Nisaani 14, mu mwaka gwa 33 E.E.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share