OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa Yatuyigiriza Engeri y’Okukuzaamu Abaana Baffe
Biki abazadde bye bayinza okuyigira ku Yakuwa Kitaabwe ow’omu ggulu, ebinaabayamba okukuza obulungi abaana baabwe? Mulabe vidiyo erina omutwe, Yakuwa Yatuyigiriza Engeri y’Okukuzaamu Abaana Baffe, era oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino ebikwata ku w’Oluganda Abilio ne Mwannyinaffe Ulla Amorim:
Bye baayitamu nga bato byabayamba bitya okukuza obulungi abaana baabwe?
Abaana baabwe bajjukira bintu ki ebirungi ebyaliwo mu bulamu bwabwe nga bakyali bato?
Abilio ne Ulla baakolera batya ku Ekyamateeka 6:6, 7?
Lwaki tebaabuuliranga bubuulizi baana baabwe kya kukola?
Baayamba batya abaana baabwe okusalawo obulungi mu bulamu?
Baakubirizanga abaana baabwe okuluubirira obuweereza obw’ekiseera kyonna wadde nga kyali kibeetaagisa kwefiiriza ki ng’abazadde? (bt-E lup. 178 ¶19)