Jjanwali 14-20
EBIKOLWA 23-24
Oluyimba 148 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Avunaanibwa Okuba Omuntu ow’Omutawaana era Aleetera Abalala Okujeemera Gavumenti”: (Ddak. 10)
Bik 23:12, 16—Olukwe lw’okutta Pawulo lwagwa butaka (bt-E lup. 191 ¶5-6)
Bik 24:2, 5, 6—Munnamateeka ayitibwa Terutuulo yavunaana Pawulo eri gavana Omuruumi (bt-E lup. 192 ¶10)
Bik 24:10-21—Pawulo yeewozaako mu ngeri eweesa ekitiibwa era n’awa obujulirwa n’obuvumu (bt-E lup. 193-194 ¶13-14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bik 23:6—Lwaki Pawulo yeeyita Omufalisaayo? (“ndi Mufalisaayo” awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 23:6, nwtsty)
Bik 24:24, 27—Dulusira yali ani? (“Dulusira” awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 24:24, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 23:1-15 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko birowoozo.
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Omuntu tayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 2)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Omuntu tayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 3)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Alipoota y’Omwaka gw’Obuweereza: (Ddak. 15) Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde. Bw’omala okusoma alipoota y’omwaka gw’obuweereza evudde ku ofiisi y’ettabi, buuza ebibuuzo ababuulizi be walonze nga bukyali, abalina ebyokulabirako ebizzaamu amaanyi bye baafuna mu buweereza mu mwaka oguwedde.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 50
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 128 n’Okusaba