LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr19 Febwali lup. 1-6
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2019
  • Subheadings
  • FEBWALI 4-10
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2019
mwbr19 Febwali lup. 1-6

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

FEBWALI 4-10

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABARUUMI 1-3

“Weeyongere Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda”

lvs lup. 18 ¶6

Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi

N’abantu abatamanyi Yakuwa bamanyi nti waliwo ebintu ebituufu n’ebikyamu. Bayibuli egamba nti: “Mu birowoozo byabwe bavunaanibwa omusango oba bejjeerezebwa.” (Abaruumi 2:14, 15) Ng’ekyokulabirako, abantu abasinga obungi bamanyi nti kikyamu okutta oba okubba. Bwe bakola ekituufu, ka babe nga bakimanyi oba nedda, baba bawuliriza omuntu waabwe ow’omunda, kwe kugamba, obusobozi Yakuwa bwe yabawa obw’okumanya ekituufu n’ekikyamu. Ate era baba bakolera ku misingi Katonda gye yatuwa okutuyamba okusalawo obulungi.

lvs lup. 19-20 ¶8-9

Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi

Abantu abamu balowooza nti okuwuliriza omuntu waabwe ow’omunda kitegeeza kukolera bukolezi ku nneewulira yaabwe. Balowooza nti basobola okukola buli kimu kye baagala kasita kiba nga kibaleetera okuwulira obulungi. Naye enneewulira yaffe tetuukiridde, era esobola okutuwabya. Oluusi enneewulira yaffe eba ya maanyi nnyo ne kiba nti esobola okuwabya omuntu waffe ow’omunda. Bayibuli egamba nti: “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo. Ani ayinza okugumanya?” (Yeremiya 17:9) N’olwekyo, oluusi tuyinza okulowooza nti ekintu kituufu kyokka nga kikyamu. Ng’ekyokulabirako, Pawulo bwe yali tannafuuka Mukristaayo, yayigganyanga nnyo abantu ba Katonda ng’alowooza nti kye yali akola kyali kituufu. Yali awulira ng’alina omuntu ow’omunda omulungi. Naye oluvannyuma yagamba nti: “Ansalira omusango [ankebera] ye Yakuwa.” (1 Abakkolinso 4:4; Ebikolwa 23:1; 2 Timoseewo 1:3) Pawulo bwe yamanya engeri Yakuwa gye yali atwalamu ekyo kye yali akola, yakiraba nti yalina okukyusaamu. N’olwekyo, nga tetunnakola kintu kyonna, tusaanidde okusooka okwebuuza, ‘Kiki Yakuwa ky’ayagala nkole?’’

Bw’oba oyagala omuntu, oba toyagala kukola kintu kyonna kimunyiiza. Naffe olw’okuba twagala Yakuwa, tetwagala kukola kintu kyonna kimunyiiza. Kikulu nnyo okuba nga tutya okukola ekintu kyonna ekinyiiza Yakuwa. Ku nsonga eno, lowooza ku Nekkemiya. Yeewala okukozesa obuyinza bwe yalina nga gavana okwenoonyeza eby’obugagga. Lwaki? Yagamba nti yali ‘atya Katonda.’ (Nekkemiya 5:15) Nekkemiya yali tayagala kukola kintu kyonna kinyiiza Yakuwa. Okufaananako Nekkemiya, naffe tusaanidde okutya okukola ekintu kyonna ekinyiiza Yakuwa. Bwe tusoma Bayibuli, tusobola okumanya ebyo ebisanyusa Yakuwa.—Laba Ebyongerezeddwako 6.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 6/15 lup. 30 ¶5

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abaruumi

3:4. Abantu kye bagamba bwe kiba kikontana n’Ekigambo kya Katonda, tulaga nti ‘Katonda wa mazima’ nga twesiga Baibuli ky’egamba era nga tukola nga Katonda bw’ayagala. Bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa, tusobola okubayamba okukiraba nti Katonda wa mazima.

w08 6/15 lup. 29 ¶6

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abaruumi

3:24, 25—‘Ekinunulo kya Kristo Yesu’ kyasobola kitya okutangirira “ebibi ebyakolebwanga edda” nga tekinnaba kuweebwayo? Obunnabbi obukwata ku Masiya obwasooka obuli mu Olubereberye 3:15 bw’atuukirizibwa mu 33 E.E., Yesu bwe yattibwa ku muti ogw’okubonaabona. (Bag. 3:13, 16) Kyokka, Yakuwa olwamala okwogera ebigambo by’obunnabbi ebyo, ekinunulo yali akitwala ng’ekimaze okuweebwayo, kubanga tewali kintu kyonna kiyinza kumulemesa kutuukiriza bigendererwa bye. N’olwekyo, ng’asinziira ku ssaddaaka Yesu Kristo gye yali ajja okuwaayo mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa yali asobola okusonyiwa ebibi by’abazzukulu ba Adamu abaali bakkiririza mu kisuubizo ekyo. Ekinunulo era kisobozesa abantu abaafa mu kiseera ng’Obukristaayo tebunnatandika okuzuukizibwa.—Bik. 24:15.

FEBWALI 11-17

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABARUUMI 4-6

“Katonda Atulaga Okwagala Kwe”

w11 6/15 lup. 12 ¶5

Katonda Atulaga Okwagala Kwe

Pawulo agamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Bar. 5:12) Kino tusobola bulungi okukitegeera kubanga Katonda yateeka mu buwandiike ebikwata ku ngeri obulamu bw’omuntu gye bwatandikamu. Yakuwa yatonda abantu babiri, Adamu ne Kaawa. Olw’okuba Omutonzi waffe atuukiridde, ne bazadde baffe abaasooka baali batuukiridde. Katonda alina etteeka lye yabawa era n’abagamba nti bwe bandirimenye ekibonerezo kyandibadde kufa. (Lub. 2:17) Kyokka, baasalawo okumenya etteeka lya Katonda, mu ngeri eyo ne bakiraga nti baali bagaanyi Yakuwa okuba Omufuzi waabwe era Omuwi w’Amateeka.—Ma. 32:4, 5.

w11 6/15 lup. 12 ¶6

Katonda Atulaga Okwagala Kwe

Adamu we yazaalira abaana, yali amaze okwonoona era abaana be bonna baasikira ekibi n’ebizibu ebyava mu kibi ekyo. Kyo kituufu nti abaana be bo tebaamenya tteeka lya Katonda nga Adamu, era tebazza musango gwe gumu nga ye; ate era mu kiseera ekyo baali tebannaweebwa tteeka lyonna. (Lub. 2:17) Wadde kyali kityo, bazzukulu ba Adamu baasikira ekibi. Bwe kityo, ekibi n’okufa byafuga nga kabaka okutuusa Katonda bwe yawa Abaisiraeri Amateeka, agaabayamba okukiraba nti baali boonoonyi. (Soma Abaruumi 5:13, 14.) Ekibi kye twasikira kiyinza okugeraageranyizibwa ku bulwadde abaana bwe bayinza okusikira okuva ku bazadde baabwe. Wadde ng’abaana abamu mu maka bayinza okusikira obulwadde obwo, abalala bayinza obutabusikira. Kyokka ekyo si bwe kiri bwe kituuka ku kibi. Ffenna twasikira ekibi okuva ku Adamu era eyo ye nsonga lwaki ffenna tufa. Naye tusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo?

w11 6/15 lup. 13 ¶9-10

Katonda Atulaga Okwagala Kwe

Makulu ki agali mu bigambo by’Oluyonaani ebyavvuunulwa “okuyitibwa abatuukirivu” ne “baayitibwa batuukirivu”? Omuvvuunuzi wa Bayibuli omu yagamba nti: “Ebigambo ebyo lulimi lwa kabonero olufaananako olwo olukozesebwa mu kkooti. Biwa ekifaananyi eky’okuba nti ennyimirira y’omuntu mu maaso ga Katonda eba ekyuse, naye nga si lwa kuba nti omuntu oyo aba takyali mwonoonyi . . . Ebigambo ebyo biraga nti Katonda alinga omulamuzi alamula omuwawaabirwa gwe baleese mu maaso ge ng’avunaanibwa omusango ogw’obutaba mutuukirivu, naye Katonda n’asalawo okumuggyako omusango ogwo.”

Naye ‘Omulamuzi w’ensi yonna’ omutuukirivu yandisinzidde ku ki okuggya omusango ku bantu abatali batuukirivu? (Lub. 18:25) Katonda yasalawo okusindika ku nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka. Yesu yakola Kitaawe by’ayagala mu ngeri etuukiridde wadde nga yakemebwa, yavumibwa, era yakubibwa. Yakuuma obugolokofu bwe okutuukira ddala okufa ku muti ogw’okubonaabona. (Beb. 2:10) Mu kuwaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka, Yesu yawaayo ekinunulo okununula bazzukulu ba Adamu okuva mu kibi n’okufa.—Mat. 20:28; Bar. 5:6-8.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 6/15 lup. 29 ¶7

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abaruumi

6:3-5—Kitegeeza ki okubatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu n’okubatizibwa okuyingira mu kufa kwe? Yakuwa bw’afuka omwoyo omutukuvu ku bagoberezi ba Kristo, babeera bumu ne Yesu era beegatta ku kibiina, nga kino gwe mubiri gwa Kristo, nga ye gwe Mutwe gwakyo. (1 Kol. 12:12, 13, 27; Bak. 1:18) Okwo kwe kubatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta era ‘babatizibwa okuyingira mu kufa kwa Kristo’ mu ngeri nti obulamu bwabwe buba bwa kwefiiriza era beefiiriza essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi. N’olwekyo, okufaananako Kristo, bwe bafa obulamu bwabwe babuwaayo nga ssaddaaka wadde ng’okufa okwabwe tekukola nga kinunulo. Okubatizibwa kwabwe okuyingira mu kufa kwa Kristo kukomekkerezebwa bwe bafa ne bazuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu.

w14 6/1 lup. 11 ¶1

Tuliddamu Okulaba Abantu Baffe Abaafa?

Abatali batuukirivu bwe balizuukizibwa, balisalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye baakola nga tebannafa? Nedda. Abaruumi 6:7 wagamba nti: “Oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.” Ekyo kitegeeza nti omuntu bw’afa aba amaze okusasulira ebibi bye yakola. N’olwekyo, abatali batuukirivu balisalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye balikola oluvannyuma lw’okuzuukira, so si ebyo bye baakola mu butamanya nga tebannafa. Mikisa ki gye banaafuna?

FEBWALI 18-24

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABARUUMI 7-8

“Olindirira nga Weesunga?”

w12 7/15 lup. 11 ¶17

Kkiriza Yakuwa Akuwe Eddembe Erya Nnamaddala

Bwe yali ayogera ku ddembe Yakuwa ly’anaawa abaweereza be abanaabeera ku nsi, Pawulo yagamba nti: “Ebitonde byesunga nnyo nga birindirira okubikkulwa kw’abaana ba Katonda.” Era yagattako nti: “[Ebitonde] bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:19-21) “Ebitonde” ebyogerwako awo be bantu abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, abajja okuganyulwa mu ‘kubikkulibwa’ kw’abaana ba Katonda abaafukibwako amafuta. Okubikkulibwa okwo kujja kutandika ng’abaafukibwako amafuta, abanaaba mu ggulu, bakolera wamu ne Kristo okuzikiriza abantu ababi bonna era nga bayamba ‘ab’ekibiina ekinene’ okuyingira mu nteekateeka empya ey’ebintu.—Kub. 7:9, 14.

w12 3/15 lup. 23 ¶11

Sanyukira Essuubi ly’Olina

Yakuwa yasuubiza okununula abantu okuva mu bufuge ‘bw’omusota ogw’edda,’ Sitaani Omulyolyomi, ng’ayitira mu ‘Zzadde’ eryasuubizibwa. (Kub. 12:9; Lub. 3:15) Yesu Kristo lye ‘zzadde’ ekkulu eryasuubizibwa. (Bag. 3:16; obugambo obuli wansi) Yesu bwe yafa era n’azuukira, ekyo kyasobozesa abantu okuba n’essuubi ery’okununulibwa okuva mu kibi n’okufa. Essuubi eryo lirina akakwate ‘n’okubikkulibwa kw’abaana ba Katonda’ abaafukibwako amafuta, ng’abo be balala abali mu ‘zzadde’ eryasuubizibwa. Abaafukibwako amafuta bajja ‘kubikkulibwa’ nga bakolera wamu ne Kristo okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani. (Kub. 2:26, 27) Ekyo kijja kusobozesa ab’endiga endala abanaayita mu kibonyoobonyo ekinene okulokolebwa.—Kub. 7:9, 10, 14.

w12 3/15 lup. 23 ¶12

Sanyukira Essuubi ly’Olina

Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bujja kuleetera abantu obuweerero obw’amaanyi! Mu kiseera ekyo, “abaana ba Katonda” bajja kwongera ‘okubikkulibwa’ nga baweereza nga bakabona awamu ne Kristo, nga bayamba abantu okuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, abantu abawulize bajja “kusumululwa” mpolampola “okuva mu buddu bw’okuvunda.” Bajja kununulibwa okuva mu kibi n’okufa. Singa banaasigala nga beesigwa eri Yakuwa mu myaka olukumi era ne mu kugezesebwa okunaabaawo ku nkomerero y’emyaka egyo, amannya gaabwe gajja kusigala mu “muzingo ogw’obulamu.” Bajja kufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Kub. 20:7, 8, 11, 12) Ng’eryo ssuubi lya kitalo!

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w17.06 lup. 3

Okyajjukira?

Njawulo ki eriwo wakati ‘w’okulowooza eby’omubiri n’okulowooza eby’omwoyo’? (Bar. 8:6)

Omuntu alowooza eby’omubiri ebirowoozo bye abimalira ku bintu omubiri bye gwegomba, era buli kiseera ebintu ebyo by’aba ayogerako era by’atwala ng’ebikulu. Ate ye omuntu alowooza eby’omwoyo ebirowoozo bye abimalira ku Katonda n’ebyo by’ayagala; Omukristaayo ng’oyo akulemberwa omwoyo omutukuvu. Okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa ate okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.—w16.12, lup. 15-17.

w09 11/15 lup. 7 ¶20

Essaala Zo Ziraga Ki ku Nkolagana Yo ne Yakuwa?

Oluusi tuyinza obutamanya kya kwogera nga tusaba. Pawulo yawandiika nti: “Kye tusaanidde okusaba nga bwe twagala tetukimanya, naye omwoyo [omutukuvu] gwennyini gwegayirira ku lwaffe bwe tuba tusinda wadde ng’ebituleetera okusinda tetubyogera. [Katonda] oyo akebera omutima amanyi ekigendererwa ky’omwoyo.” (Bar. 8:26, 27) Yakuwa yaluŋŋamya essaala nnyingi ne ziwandiikibwa mu Baibuli. Akitwala nti ebiri mu ssaala ezo naffe twandyagadde okubisaba era bw’atyo abituukiriza. Yakuwa atumanyi bulungi era amanyi n’amakulu agali mu ebyo abawandiisi ba Baibuli bye baawandiika nga baluŋŋamizibwa omwoyo gwe. Addamu okusaba kwaffe omwoyo bwe “gwegayirira” ku lwaffe. Naye bwe tugenda tweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda, bye tusaanidde okwogera nga tusaba bituggira mangu.

FEBWALI 25–MAAKI 3

EKIAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABARUUMI 9-11

“Ekyokulabirako Ekikwata ku Muzeyituuni”

w11 5/15 lup. 23 ¶13

‘Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!’

Omutume Pawulo agenda mu maaso n’ageraageranya abo abali mu zzadde lya Ibulayimu ku matabi g’omuzeyituuni ogw’akabonero. (Bar. 11:21) Omuzeyituuni guno ogw’omu nnimiro gukiikirira okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku ndagaana gye yakola ne Ibulayimu. Ekikolo ky’omuti guno kitukuvu era kikiikirira Yakuwa oyo awa Isiraeri ow’omwoyo obulamu. (Is. 10:20; Bar. 11:16) Enduli y’omuti guno ekiikirira Yesu ezzadde ekkulu erya Ibulayimu. Amatabi g’omuti guno gonna awamu gakiikirira ‘omuwendo omujjuvu’ ogw’abalala abali mu zzadde lya Ibulayimu.

w11 5/15 lup. 24 ¶15

‘Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!’

Kati olwo kiki Yakuwa kye yakola okusobola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira? Pawulo yagamba nti amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko gaayungibwa ku muzeyituuni ogw’omu nnimiro ne gadda mu kifo ky’ago agaamenyebwako. (Soma Abaruumi 11:17, 18.) Bwe kityo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta Ab’amawanga, gamba ng’abo abaali mu kibiina ky’e Rooma, mu ngeri ey’akabonero baayungibwa ku muzeyituuni ogw’akabonero. Mu ngeri eyo, baafuuka abamu ku abo abali mu zzadde lya Ibulayimu. Mu kusooka, baali ng’amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko, nga tebalina ssuubi lyonna lya kuba mu ndagaano Katonda gye yakola ne Ibulayimu. Naye Yakuwa yabaggulirawo ekkubo okufuuka Abayudaaya ab’omwoyo.—Bar. 2:28, 29.

w11 5/15 lup. 25 ¶19

‘Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!’

19 Yee, ekigendererwa kya Yakuwa ekikwata ku “Isiraeri wa Katonda” kituukirizibwa mu ngeri ey’ekitalo. (Bag. 6:16) Nga Pawulo bwe yagamba, “Isiraeri yenna ajja kulokolebwa.” (Bar. 11:26) Mu kiseera kya Yakuwa ekigereke, “Isiraeri yenna”—kwe kugamba, omuwendo omujjuvu ogw’Abaisiraeri ab’omwoyo—ajja kuweereza nga bakabaka era bakabona mu ggulu. Tewali kintu kyonna kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye!

w13 6/15 lup. 25 ¶5

Kkiriza Yakuwa Okukubumba

Watya singa omuntu agaana okukkiriza Yakuwa, Omubumbi Omukulu, okumubumba? Mu mbeera ng’eyo, Yakuwa akozesa atya obuyinza bwe? Lowooza ku ekyo ekiyinza okubaawo singa omubumbi akiraba nti ebbumba ly’alina tasobola kulibumbamu kintu ky’aba ayagala okubumba. Omubumbi ayinza okusalawo okulibumbamu ekintu ekirala oba si ekyo, ayinza okusalawo okulisuula. Ebbumba bwe lyonooneka, ebiseera ebisinga obuzibu buba buvudde ku mubumbi. Kyokka ye Omubumbi waffe Omukulu bulijjo abumba abantu mu ngeri entuufu. (Ma. 32:4) Omuntu bw’agaana Yakuwa okumubumba, obuzibu buba ku muntu oyo, so si ku Yakuwa. Yakuwa asobola okukyusa mu ngeri gy’abumbamu abantu okusinziira ku ngeri gye beeyisaamu ng’ababumba. Abo abakkiriza Yakuwa okubabumba nga bw’ayagala, bafuuka ba mugaso gy’ali. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘bibya eby’okusaasira,’ ebibumbiddwa okuba ‘ebibya eby’ekitiibwa.’ Ku luuyi olulala, abo abagaana Katonda okubabumba bafuuka “ebibya eby’obusungu ebigwanidde okuzikirizibwa.”—Bar. 9:19-23.

it-1-E lup. 1260 ¶2

Okuba n’Obuggya, Obuggya

Obunyiikivu Obuteesigamiziddwa ku Kumanya Okutuufu. Omuntu ayinza okuba omunyiikivu oba ayinza okuba n’obuggya ku kintu, naye nga kikyamu era nga tasanyusa Katonda. Bwe batyo Abayudaaya bangi ab’omu kyasa ekyasooka bwe baali. Baalowooza nti bwe bandikutte obutiribiri Amateeka ga Musa bandibadde batuukirivu. Naye Pawulo yalaga nti obunyiikivu bwabwe bwali tebugasa kubanga bwali tebwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu. N’olwekyo, tebaafuna butuukirivu obwa nnamaddala obuva eri Katonda. Baalina okutegeera ensobi zaabwe ne badda eri Katonda okuyitira mu Kristo ne bafuna obutuukirivu n’eddembe okuva mu kikolimo ky’Amateeka. (Bar 10:1-10) Sawulo ow’e Taluso yali omu ku bo era yali munyiikivu nnyo mu ddiini y’Ekiyudaaya n’atuuka ‘n’okuyigganya ennyo ekibiina kya Katonda n’okwagala okukizikiriza.’ Yakwata nnyo Amateeka n’atuuka n’okulowooza nti ‘teyaliiko kya kunenyezebwa.’ (Bag 1:13, 14; Baf 3:6) Kyokka obunyiikivu bwe mu ddiini y’Ekiyudaaya bwali tebwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu. Naye olw’okuba yali mwesimbu, Yakuwa yamulaga ekisa eky’ensusso okuyitira mu Kristo n’amuleeta mu kusinza okw’amazima.—1Ti 1:12, 13.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share