LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp21 Na. 1 lup. 14-15
  • Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Similar Material
  • Okusaba—Engeri gye Kuyinza Okukuganyulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 1 lup. 14-15

Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu

Pamela bwe yafuna obulwadde obw’amaanyi yagenda mu ddwaliro. Naye era yasaba Katonda amuyambe asobole okugumira embeera gye yalimu. Okusaba kwamuyamba kutya?

Pamela agamba nti, “Bwe nnali nfuna obujjanjabi bw’ekirwadde kya kookolo, nneeraliikiriranga nnyo. Naye bwe nnasabanga Yakuwa Katonda, kyannyambanga okuguma era n’okuba omukkakkamu. Nkyalina obulumi, naye okusaba kunnyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Abantu bwe bambuuza engeri gye mpuliramu, mbaddamu nti ‘ssewulira bulungi, naye ndi musanyufu!’”

Kyokka, tetulina kulinda kufuna bulwadde bwa maanyi oba okubeera mu mbeera enzibu, ne tulyoka tusaba. Ffenna tufuna ebitusoomooza, ka bibe binene oba bitono, era tuba twetaaga obuyambi okusobola okubivvuunuka. Okusaba kuyinza okutuyamba?

Bayibuli egamba nti: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga. Talireka mutuukirivu kugwa.” (Zabbuli 55:22) Ebigambo ebyo nga bizzaamu nnyo amaanyi! Kati olwo okusaba kuyinza kutya okukuyamba? Bw’osaba Katonda mu ngeri entuufu, ajja kukuyamba okuvvuunuka ekizibu ky’olina oba okukigumira.​—Laba ebiri wansi w’omutwe, “Emiganyulo Egiri mu Kusaba.”

Emiganyulo Egiri mu Kusaba

Ofuna emirembe mu mutima

Omusajja eyabadde omunakuwavu kati musanyufu.

“Mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Abafiripi 4:6, 7) Bw’obuulira Katonda ebikweraliikiriza, ajja kukuyamba okusigala ng’oli mukkakkamu era akuwe amagezi aganaakuyamba okusalawo obulungi.

Katonda akuwa amagezi

Omukazi eyabadde asoma essaala eyawandiikibwa mu kitabo, kati yeesomera Bayibuli ye ng’ali waka.

“Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira; era gajja kumuweebwa.” (Yakobo 1:5) Bwe tuba mu mbeera enzibu, tetutera kusalawo bulungi. Bw’osaba Katonda akuwe amagezi, ajja kukuyamba okujjukira amagezi amalungi agali mu Kigambo kye, Bayibuli.

Ozzibwamu amaanyi era obudaabudibwa

Abafumbo abaabadde mu ddwaliro, kati batambulako. Omusajja ayamba mukyala atambuza omuggo.

“Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Olw’okuba Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, asobola okukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okugumira ekizibu ky’olina oba okukivvuunuka. (Isaaya 40:29) Ate era Bayibuli egamba nti, Yakuwa ye “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” Asobola okutubudaabuda “mu kubonaabona kwaffe kwonna.”​—2 Abakkolinso 1:3, 4.

OYAGALA OKUGANYULWA MU KUSABA?

Yakuwa Katonda takukaka kumusaba. Mu kifo ky’ekyo, akukubiriza bukubiriza okumusaba. (Yeremiya 29:11, 12) Watya singa obaddenga osaba, naye ng’owulira nti essaala zo teziddibwamu? Toggwaamu maanyi. Abazadde bayinza obutawa baana baabwe ekyo kyennyini kye babasabye oba okukibawa mu kiseera kyennyini kye bakisuubiriramu. Oboolyawo abazadde baba bamanyi ekisingayo obulungi eky’okukolera abaana baabwe. Naye tuli bakakafu nti abazadde abaagala abaana baabwe baba baagala nnyo okubayamba.

Yakuwa Katonda ye Kitaffe asingayo obulungi era ayagala nnyo okukuyamba. Bw’onoogoberera amagezi agaweereddwa mu katabo kano agakwata ku ngeri entuufu ey’okusabamu, Katonda ajja kuddamu essaala zo!​—Zabbuli 34:15; Matayo 7:7-11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share