LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp21 Na. 2 lup. 7-9
  • Enkomerero Enejja? Ekyo Yesu kye Yagamba

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkomerero Enejja? Ekyo Yesu kye Yagamba
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LOWOOZA KU BINTU BYA MIRUNDI EBIRI YESU BYE YAYOGERA KU NKOMERERO:
  • AKABONERO
  • “NNAKU EZ’ENKOMERERO”
  • ENSI EMPYA ERI KUMPI!
  • Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkomerero Eri Kumpi?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Engeri Gye Tumanyiimu nga Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
  • Enkomerero Ogitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 2 lup. 7-9
Yesu ng’abuulira abatume be ebiri mu kabonero ak’ennaku ez’enkomerero.

Enkomerero Enejja? Ekyo Yesu Kye Yagamba

Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, Bayibuli bw’eyogera ku nkomerero y’ensi, eba tetegeeza nkomerero y’ensi eno kwe tutudde oba enkomerero y’abantu. Wabula eba etegeeza enkomerero y’enteekateeka embi eriwo n’abo bonna abagiwagira. Naye Bayibuli eraga ekiseera enkomerero y’enteekateeka eno embi lw’enejja?

LOWOOZA KU BINTU BYA MIRUNDI EBIRI YESU BYE YAYOGERA KU NKOMERERO:

“Mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.”​—MATAYO 25:13.

“Mutunulenga, mubeerenga bulindaala, kubanga temumanyi kiseera ekigereke we kinaatuukira.”​—MAKKO 13:33.

N’olwekyo, tewali muntu yenna ku nsi amanyi kiseera kyennyini enkomerero w’enejjira. Kyokka Katonda yassaawo ekiseera ekigereke, kwe kugamba, ‘olunaku n’essaawa enkomerero lw’enejja.’ (Matayo 24:36) Ekyo kitegeeza nti tewali ngeri yonna gye tuyinza kumanyaamu obanga enkomerero eneetera okujja? Si bwe kiri. Yesu yagamba abagoberezi be okwetegereza ebintu ebitali bimu ebyandibadde biraga nti enkomerero eneetera okujja.

AKABONERO

Ebintu ebyo kandibadde kabonero akalaga “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” Yesu yagamba nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.” (Matayo 24:3, 7) Ate era yagamba nti wandibaddewo “endwadde ez’amaanyi.” (Lukka 21:11) Ebintu ebyo Yesu bye yayogerako obiraba?

Entalo ez’amaanyi, enjala, musisi, n’endwadde ezitali zimu bingi nnyo mu nsi. Ng’ekyokulabirako, mu 2004 musisi ow’emaanyi yayita mu Guyanja Indian n’aviirako sunami okutta abantu nga 225,000. Mu myaka esatu, obulwadde bwa COVID-19 bwatta abantu ng’obukadde mukaaga mu emitalo kyenda mu nsi yonna. Yesu yagamba nti ebintu ng’ebyo byandibadde biraga nti enkomerero eneetera okujja.

“NNAKU EZ’ENKOMERERO”

Ekiseera ekisembayo enkomerero eryoke ejje Bayibuli ekiyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (2 Peetero 3:3, 4) 2 Timoseewo 3:1-5, walaga nti mu nnaku ez’enkomerero, empisa z’abantu zandibadde zoonooneka nnyo. (Laba akasanduuko, “Ng’Enkomerero Eneetera Okujja.”) Olaba abantu abeefaako bokka, ab’omululu, abakambwe, n’abatalaga balala kwagala? N’ebyo biraga nti enkomerero eneetera okujja.

Ennaku ez’enkomerero zinaamala kiseera kyenkana wa? Okusinziira ku Bayibuli, zijja kumala “akaseera katono.” Oluvannyuma Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’​—Okubikkulirwa 11:15-18; 12:12.

Entalo

Abasirikale nga bali mu lutalo bakuba amasasi.
  • Wakati wa 2007 ne 2017: Omuwendo gw’abantu abaafa olw’entalo n’ebikolwa eby’obutujju gwalinnya ne gutuuka ku bantu 118 ku buli kikumi

Endwadde

Omusajja omulwadde ennyo ng’ali mu ddwaliro.
  • Ezisinze okutta abantu mwe muli obulwadde bw’omutima, obulwadde obukosa emisuwa, obulwadde bw’amawuggwe, obulwadde obukwata abaana abawere, ekiddukano, kookolo, akafuba

Enjala

Omwana alumwa enjala ey’amaanyi ng’akutte ebbakuli.
  • 2021: Abantu 9.8 ku buli kikumi ku bantu bonna abali mu nsi be baali mu njala ey’amaanyi, era kumpi omwana 1 ku baana basatu baakonziba olw’endya embi

Okubuulira mu Nsi Yonna

Abajulirwa ba Yakuwa nga bayimiridde okumpi n’akagaali okuli ebitabo nga boogera n’omusajja.
  • Ababuulizi (Abajulirwa ba Yakuwa) abasukka mu 8,600,000 bagabira abantu ebitabo ebiri mu nnimi ezisukka mu 1,000 mu nsi 240

ENSI EMPYA ERI KUMPI!

Katonda yassaawo dda olunaku n’essaawa w’anaazikiririza enteekateeka eno embi. (Matayo 24:36) Naye eky’essanyu kiri nti, “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa.” (2 Peetero 3:9) Awadde abantu bonna akakisa okuyiga ebyo by’ayagala. Lwaki? Kubanga ayagala tuwonewo ng’ensi eno ezikirizibwa tusobole okubeera mu nsi empya ejja okuba ennungi ennyo era atajja kubeeramu kizibu kyonna.

Katonda ataddewo enteekateeka mu nsi yonna ey’okuyigiriza abantu basobole okumanya engeri gye basobola okubeera mu nsi empya nga bafugibwa Obwakabaka bwe. Yesu yagamba nti amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gandibadde gabuulirwa “mu nsi yonna.” (Matayo 24:14) Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna baamala essaawa buwumbi na buwumbi nga babuulira era nga bayigiriza obubaka obuli mu Bayibuli obuwa essuubi. Yesu yagamba nti okubuulira kuno kwandibadde kukolebwa mu nsi yonna ng’enkomerero eneetera okujja.

Ekiseera ky’obufuzi bw’abantu kyenkana kiweddeyo. Naye eky’essanyu kiri nti osobola okuwonawo ng’ensi eno ezikirizibwa, osobole okubeera mu nsi eneeba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Ekitundu ekiddako kiraga by’olina okukola okusobola okubeera mu nsi eyo empya.

NG’ENKOMERERO ENEETERA OKUJJA

“Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda lwabwe, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu mu kifo ky’okwagala Katonda, era nga bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko.”​—2 TIMOSEEWO 3:1-5.

Obunnabbi bwa Yesu obukwata ku “nnaku ez’enkomerero” butuwa essuubi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share