EBYAFAAYO
Yakuwa Atuyambye Okuba Abasanyufu mu Buli Mbeera
OKUBA abasanyufu mu buli mbeera kiyinza okulabika ng’ekitasoboka. Naye Mats ne Ann-Catrin, abafumbo okuva mu nsi ya Sweden, bafubye okuba abasanyufu mu buli mbeera. Kiki ekibayambye?
Ow’oluganda ne mwannyinaffe Kassholm baagenda mu Ssomero lya Gireyaadi mu 1979 era bazze basindikibwa mu bitundu ebitali bimu. Baasindikibwa okuweereza mu Iran, Mauritius, Myanmar, Tanzania, Uganda, ne mu Zaire. Bwe baali mu Gireyaadi, omusomesa waabwe Jack Redford, yabawa amagezi agaabayambanga buli lwe baasindikibwanga okuweereza mu kitundu ekirala. Ka batunnyonnyole.
Ow’oluganda ne mwannyinaffe Kassholm, mutubuulire engeri gye mwayigamu amazima.
Mats: Mu kiseera kya Ssematalo II, taata wange yali abeera mu Poland era yali alabye obunnanfuusi bungi mu ddiini y’Ekikatoliki. Yateranga okugamba nti, “Wateekwa okuba nga waliyo eddiini ey’amazima!” Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakiraba nti yali mutuufu. Nnateranga okugula ebitabo bingi. Ekimu ku bitabo ebyo kyalina omutwe, The Truth That Leads to Eternal Life. Omutwe ogwo gwansikiriza nnyo era ekitabo ekyo nnakisoma ekiro ekyo ne nkimalako. Bwe nnamala okukisoma, nnakitegeera nti nnali nzudde eddiini ey’amazima!
Okuva mu Apuli 1972, nnasoma ebitabo ebirala bingi eby’Abajulirwa ba Yakuwa era nnafuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebirala bingi bye nnali nneebuuza ku Katonda. Nnawulira ng’omusuubuzi Yesu gwe yayogerako, eyazuula luulu ey’omuwendo omungi era n’atunda byonna bye yalina okugigula. Nange nnakola ng’omusajja oyo, nneerekereza okugenda ku yunivasite okusoma obusawo, ne nsalawo okuweereza Yakuwa. (Mat. 13:45, 46) Nnabatizibwa nga Ddesemba 10, 1972.
Mu mwaka gumu, bazadde bange ne muganda wange omuto, bakkiriza amazima era ne babatizibwa. Mu Jjulaayi 1973, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Mu kibiina kyaffe mwalimu mwannyinaffe ayitibwa Ann-Catrin. Yali payoniya munyiikivu, ng’alabika bulungi, era ng’ayagala nnyo Yakuwa. Twatandika okwogerezeganya era twafumbiriganwa mu 1975. Oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, twabeera mu kabuga akalabika obulungi akayitibwa Strömsund, akaalimu abantu abaali baagala ennyo okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli.
Ann-Catrin: Taata wange yayiga amazima ng’amaliriza emisomo gye ku yunivasite mu kibuga Stockholm. Mu kiseera ekyo nnalina emyezi esatu gyokka, naye bwe yabanga agenda mu nkuŋŋaana ne mu kubuulira yantwalanga. Ekyo maama tekyamusanyusa era yagezaako nnyo okukakasa taata nti Abajulirwa ba Yakuwa ddiini ya bulimba. Kyokka okufuba kwe kwagwa butaka era oluvannyuma naye yabatizibwa. Nnabatizibwa nga nnina emyaka 13, era nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo nga nnina emyaka 16. Nnagenda okuweereza mu Umeå, ekitundu awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, era oluvannyuma nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo.
Nze ne Mats bwe twamala okufumbiriganwa, twakolera wamu okuyamba abantu bangi okuyiga amazima. Omu ku bo yali ayitibwa Maivor, omuwala omuto eyalekayo okuzannya emizannyo gy’ensimbi asobole okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Oluvannyuma yaweerereza wamu ne muganda wange omuto nga payoniya owa bulijjo. Bombi baagenda mu ssomero lya Gireyaadi mu 1984 era kati baweereza ng’abaminsani mu Ecuador.
Mu buweereza bwammwe ng’abaminsani, kiki ekibayambye okusigala nga muli basanyufu yonna gye mubaddenga musindikibwa”?
Mats: Twasindikibwanga okuweereza mu bitundu eby’enjawulo, naye ekimu ku bintu ebyatuyambanga okumanyiira ebitundu gye twabanga tusindikiddwa, kwe kufuba okukoppa Yesu, naddala nga tuba beetoowaze. (Bak. 2:6, 7) Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okusuubira ab’oluganda mu bitundu gye twabanga tusindikiddwa okukola ebintu nga ffe bwe twabanga twagala, twafubanga nnyo okumanya lwaki baakolanga ebintu mu ngeri gye baabikolangamu. Twali twagala nnyo okumanya endowooza yaabwe, n’obuwangwa bwabwe. Bwe twakoppa Yesu, kyatuyamba okukola enkyukakyuka ezaabanga zeetaagisa, ne kituyamba okuba abasanyufu.—Zab. 1:2, 3.
Twatambulanga nnyo nga tukyalira ebibiina
Ann-Catrin: Buli lwe twasindikibwanga mu kitundu ekirala, twabanga ng’omuti ogwakasimbibwa era ogwetaaga omusana okusobola okukula obulungi. Naffe bulijjo Yakuwa abaddenga “njuba” gye tuli. (Zab. 84:11) Yonna gye tubaddenga tuweerereza, Yakuwa atuwadde baganda baffe ne bannyinaffe abatwagala ennyo. Ng’ekyokulabirako, mu kibiina ekitono kye twalimu mu kibuga Tehran, mu Iran, baganda baffe baatusembezanga era baatuwanga ku bintu byabwe. Ekyo kyatujjukiza eby’okulabirako ebiri mu Bayibuli, eby’abo abaasembezanga abagenyi. Twali twagala nnyo okusigala nga tuweerereza mu Iran, naye mu Jjulaayi 1980, Abajulirwa ba Yakuwa baawerebwa mu nsi eyo, era ab’obuyinza batulagira okuva mu nsi eyo mu ssaawa 48 zokka. Bwe kityo twasindikibwa okuweereza mu Zaire (kati emanyiddwa nga Congo) mu Afirika.
Mu 1982; twanyumirwa nnyo obuweereza bwaffe mu Zaire
Bwe nnakimanya nti twali tusindikiddwa mu Afirika, nnakaaba. Baatugambanga nti mu Afirika waliyo emisota n’endwadde, era ebyo byantiisa nnyo. Naye waliwo mikwano gyaffe babiri abaali bamaze emyaka nga baweerereza mu Afirika, abaatugamba nti: “Temutya, kyo kituufu nti temubeerangako mu Afirika, naye mujja kuginyumirwa.” Baali batuufu kubanga Afirika yatunyumira nnyo! Bakkiriza bannaffe baatulaga okwagala kungi. Oluvannyuma lw’emyaka mukaaga twali tulina okuva mu Zaire kubanga omulimu gwaffe gwali guwereddwa. Kyokka mu kiseera ekyo nneesekerera kubanga nnali nsaba Yakuwa atuyambe tusigale mu Afirika.
Mikisa ki gye mufunye nga muweereza Yakuwa?
Emmotoka gye twasulangamu mu Tanzania, 1988
Mats: Mu bitundu gye tuweererezza, tukoze omukwano n’abaminsani okuva mu nsi ez’enjawulo. Ate era mu bitundu ebimu twafuna essanyu eritagambika, ery’okuyigiriza abantu bangi Bayibuli. Ebiseera ebimu buli omu ku ffe yabanga n’abayizi nga 20! Ate era siyinza kwerabira engeri baganda baffe ne bannyinaffe mu Afirika gye baatusembezangamu era n’engeri gye baatulagangamu okwagala. Bwe twabanga tukyalira ebibiina mu Tanzania, twasimbanga emmotoka yaffe eyitibwa Volkswagen Kombi okumpi n’amaka g’ab’oluganda, era ye yakolanga ng’ekisenge mwe twasulanga. Ab’oluganda abo baatusembezanga era oluusi baakolanga n’ekyo ‘ekisukka ku busobozi bwabwe.’ (2 Kol. 8:3) Waliwo ekintu ekirala ekikulu ennyo kye twakolanga, nga kwe kunyumyamu mu kiseera eky’akawungeezi. Mu kiseera ekyo, nze ne Ann-Catrin twanyumyanga ku ebyo ebibadde mu lunaku era ne twebaza Yakuwa okutuyamba.
Ann-Catrin: Nze ekisinze okundeetera essanyu kwe kubeerako n’ab’oluganda okuva mu nsi ez’enjawulo. Tuyize ennimi nnyingi omuli Oluperusi, Olufalansa, Oluganda, n’Oluswayiri. Ate era tuyize obuwangwa obw’enjawulo. Tuyambye abapya bangi okukulaakulana, tufunye emikwano egya nnamaddala, era tubaddenga tukolera ‘wamu’ nga tuweereza Yakuwa.—Zef. 3:9.
Ate era tulabye ebitonde bya Yakuwa bingi ebirabika obulungi era ebyewuunyisa. Buli lwe tubaddenga tusindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala, tubaddenga tuwulira nti Yakuwa ali naffe era atukulemberamu ng’alinga atulambuza. Atuyigirizza ebintu bingi ku lwaffe bye tutandisobodde kweyigiriza.
Nga tubuulira abantu ab’enjawulo mu Tanzania
Ebimu ku bizibu bye mufunye bye biruwa, era kiki ekibayambye okugumiikiriza?
Mats: Oluusi twalwalanga endwadde ez’amaanyi gamba ng’omusujja gw’ensiri. Ann-Catrin yalongoosebwa emirundi egiwerako era ekyo kyabangawo nga tetukyetegekedde. Ate era twali tweraliikirira olw’abazadde baffe kubanga baali bakaddiye. Twebaza nnyo ab’eŋŋanda zaffe abaalabirira bazadde baffe abo, ne kitusobozesa okweyongera okuweereza. Ekyo baakikolanga n’okwagala, nga basanyufu, era nga bagumiikiriza. (1 Tim. 5:4) Wadde nga twakolanga kyonna kye tusobola okubalabirira nga tusinziira gye twaweererezanga, ebiseera ebimu twaggwangamu amaanyi nga tuwulira nti tetukoze kimala.
Ann-Catrin: Mu 1983 bwe twali tuweerereza mu Zaire, nnalwala Cholera. Omusawo yagamba Mats nti, “Mukyala wo muggye mu nsi eno leero!” ku lunaku olwaddako, twalinnya ennyonyi etambuza emigugu, era nga ye yokka eyaliwo esobola okututwala e Sweden.
Mats: Twakaaba nnyo kubanga twali tulowooza nti tetugenda kweyongera kuweereza nga baminsani. Wadde ng’omusawo yali agambye nti Ann-Catrin tajja kuwona, yawona. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, twaddayo e Zaire era ku luno twali tuweerereza mu kibiina ekitono eky’Oluswayiri ekyali mu kibuga Lubumbashi.
Ann-Catrin: Bwe twali mu Lubumbashi nnafuna olubuto naye ne luvaamu. Wadde nga twali twasalawo obutazaala baana, twalumwa nnyo okufiirwa omwana waffe. Kyokka mu kiseera ekyo ekyali ekizibu, Yakuwa yatuwa emikisa gye twali tutasuubira. Twafuna abayizi ba Bayibuli bangi nnyo be twali tutafunangako. Mu bbanga eritaweza mwaka, ababuulizi mu kibiina beeyongera okuva ku 35 okutuuka ku 70, era abo abaabangawo mu nkuŋŋaana beeyongera, okuva ku 40 okutuuka ku 220. Twalina eby’okukola bingi mu mulimu gw’okubuulira era Yakuwa yawa okufuba kwaffe emikisa ekyo ne kinnyamba okubudaabudibwa. Tukyalowooza ku mwana waffe era tutera okumwogerako. Twesunga ekiseera Yakuwa lw’anaawonya obulumi bwe tulina ku mitima, mu nsi empya.
Mats: Oluvannyuma lw’ekiseera, Ann-Catrin yatandika okuwulira obunafu obw’amaanyi mu mubiri. Ate nze nnazuulwamu kookolo w’omu byenda era nnalina okulongoosebwa. Naye mu kiseera kino ndi bulungi era ne Ann-Catrin akola kyonna ky’asobola okuweereza Yakuwa.
Tukirabye nti si ffe ffekka abalina ebizibu. Oluvannyuma lw’ekittabantu ekyali mu Rwanda, mu 1994, twakyalira baganda baffe ne bannyinaffe bangi abaali mu nkambi z’abanoonyi b’obubudamu. Wadde nga baganda baffe abo baali mu mbeera nzibu, baayoleka okukkiriza okw’amaanyi, baali bagumiikiriza era baali basembeza abalala. Ekyo kyatuyigiriza nti Yakuwa alabirira abantu be mu mbeera yonna.—Zab. 55:22.
Ann-Catrin: Ekizibu ekirala kye twafuna kyaliwo nga tuva okuwaayo ofiisi y’ettabi ly’e Uganda mu 2007. Programu bwe yaggwa, ab’oluganda ne bannyinaffe 25 omwali abaminsani n’Ababeseri twalinnya emmotoka okuddayo e Nairobi, mu Kenya. Bwe twali tetunnatuuka ku nsalo ya Kenya, waliwo loole eyatuva mu maaso n’etomera emmotoka yaffe. Omuvuzi w’emmotoka gye twalimu, ne mikwano gyaffe abalala bataano baafiirawo. Ate muganda waffe omulala yafa oluvannyuma ng’atwaliddwa mu ddwaliro. Twesunga ekiseera lwe tuliddamu okulaba mikwano gyaffe abo!—Yob. 14:13-15.
Oluvannyuma twajjanjabibwa ebiwundu bye twali tufunye olw’akabenje. Naye nze ne Mats, awamu n’ab’oluganda abamu bwe twali nabo, twafuna obulwadde bw’okweraliikirira olw’akabenje ako. Nze nnagugumukanga ekiro, ng’ampulira ng’omutima ogugenda okwesiba, era ekyo kyantiisanga nnyo. Naye okusaba ennyo Yakuwa awamu n’okufumiitiriza ku bimu ku byawandiikibwa bye twagala ennyo, kyatuyamba okuguma. Ate era twafuna obuyambi bw’abasawo abaali bamanyi okujjanjaba obulwadde bw’okweraliikirira era ekyo kyatuyamba nnyo. Kati tetukyeraliikirira nnyo era tusaba Yakuwa atuyambe okubudaabuda abalala abeeraliikirira ennyo.
Bwe muba mwogera ku ngeri Yakuwa gy’abayambyemu okugumira embeera enzibu, mugamba nti Yakuwa yabasitula “ng’amagi amabisi.” Kiki kye muba mutegeeza?
Mats: Ebigambo ebyo biva mu njogera y’Oluswayiri egamba nti, “Tumebebwa kama mayai mabichi” era bitegeeza nti, “Twasitulibwa ng’amagi amabisi.” Ng’omuntu bw’asitula amagi amabisi n’obwegendereza galeme okwatika, mu ngeri ey’okwagala Yakuwa abaddenga atuyamba nga tuweerereza mu bitundu eby’enjawulo gye tubaddenga tusindikibwa. Tubaddenga tufuna byonna bye twetaaga, oluusi nga tufuna n’ebyo ebisinga ku bye twetaaga. Emu ku ngeri gye tukirabyemu nti Yakuwa atwagala era atuyamba ye ngeri Akakiiko akafuzi gye kakiraze nti katufaako.
Ann-Catrin: Ka mbabuulire emu ku ngeri Yakuwa gye yatuyambamu. Lumu nnafuna essimu okuva mu Sweden nga bantegeeza nti taata wange ali mu ddwaliro era nti mulwadde muyi. Omwami wange omusujja gwali gumulumye nnyo era mu kiseera ekyo yali yaakawona. Ate era tetwalina ssente zitumala okugula tiketi z’ennyonyi okugenda okulaba taata. N’olwekyo twasalawo tutunde emmotoka yaffe. Tuba tukyali awo ne batukubira essimu endala za mirundi ebiri. Emu yali ya bafumbo abaali bategedde ku mbeera yaffe, era abaali abeetegefu okutugulira tiketi y’ennyonyi emu. Essimu endala yali ya muganda waffe omukadde eyali yatereka ssente mu kabokisi n’awandiikako ebigambo nti, “Za muntu ali mu bwetaavu.” Mu ddakiika budakiika, Yakuwa yali amaze okutuyamba!—Beb. 13:6.
Bwe mulowooza ku myaka 50 gye mumaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna, biki bye muyize?
Nga tuli mu Myanmar gye tuweerereza kati
Ann-Catrin: Nkirabye nti Yakuwa bw’aba ow’okutuyamba tulina ‘okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tumwesiga.’ Bwe tumwesiga atulwanirira. (Is. 30:15; 2 Byom. 20:15, 17) Olw’okuba tuweerezza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna yonna gye tubaddenga tusindikibwa, tufunye emikisa mingi okusinga gye twandifunye nga tetuli mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
Mats: Ekintu ekikulu kye njize, kwe kwesiga Yakuwa mu mbeera yonna era ne ndaba engeri gy’annyambamu. (Zab. 37:5) Nga bwe yasuubiza, Yakuwa abaddenga annyamba bulijjo. Ne mu kiseera kino akyeyongera okutuyamba nga tumuweereza ku Beseri mu Myanmar.
Tusuubira nti abavubuka abaagala okugaziya ku buweereza bwabwe Yakuwa ajja kubalaga okwagala okutajjulukuka nga naffe kw’atulaze. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kubayamba okuba abasanyufu yonna gye banaasindikibwa.